TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w’aba NRM abakolera ebweru w’eggwanga abakunze

Ssentebe w’aba NRM abakolera ebweru w’eggwanga abakunze

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2016

“Mpulira abantu bangi abagamba nti, tebalonda ate nga be bawoza batubba obululu. Ggwe atakuba kalulu babeera bakubbye ki?,” Walusimbi bwe yabuuzizza abantu b’e Mbarara

Nrm 703x422

Abamu ku ba NRM abali ebweru w’eggwanga.

SSENTEBE w’ekibiina ekigatta abawagizi ba NRM ebweru w’eggwanga, Abby Walusimbi, akunze Bannayuganda okujjumbira okukuba akalulu ak’omwezi ogujja (February 18) n’abagamba nti y’engeri yokka gye basobola okumalawo enkaayana kw’ani asinga obuwagizi.

“Mpulira abantu bangi abagamba nti, tebalonda ate nga be bawoza batubba obululu. Ggwe atakuba kalulu babeera bakubbye ki?,” Walusimbi bwe yabuuzizza abantu b’e Mbarara ye ne banne mu kibiina kya ‘NRM Diaspora League’ gye baakubye olukuhhaana olusabira Pulezidenti Museveni obululu.

Mu lukuhhaana luno olwabadde ku Booma Grounds mu kibuga Mbarara, Walusimbi yasabye abawagizi ba NRM obutabuzaabuzibwa babagamba nti Museveni yawangula dda n’abategeeza nti, “Kino kijja kukakasibwa nga mumaze kumulonda noolwekyo nga February 18 mwenna muggweeyo mumuwe obululu.”

“Ababagamba nti abantu baabwe basinga Museveni amaanyi temuwakana nabo. Mulinde lwa February 18 mubalage amazima. Empaka zijja kubaggwa nga mumaze kumuyiira kalulu,” Walusimbi bwe yakiggumizza n’abasaba okwongera okuba n’empisa nga bakuyega abantu.

Ekibiina kino kirimu Bannayuganda abakolera e South Africa, Sweden, USA n’awalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...