TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Makumbi afudde agemye baganzi be okusombera kitaawe abaana

Makumbi afudde agemye baganzi be okusombera kitaawe abaana

By Joseph Mutebi

Added 16th January 2016

Makumbi ebya Paddy Bitama bya mukanga nnyo afudde etaddewo etteeka

Mak2 703x422

Mark Agustins Makumbi eyatuvudde ku maaso

MARK Makumbi alese azibikidde abakazi okusomba abaana okubaleeta mu lumbe ng’amaze okufa nga bagamba nti ye ya babazaalamu. Abaana be alese abakebezza omusaayi n’akalaatira Abeekika nti bw’eribaayo aleeta omwana ng’agamba nti wuwe basookanga kumukebeza musaayi.

Makumbi okutuuka ku bino, Paddy Bitama yamala kufa ne kizuuka nga yali akaayanirwa abasajja babiri Omugenzi Sam Tamale ow’e Nansana ne ne Peter Njegula ow’e Magere ku lw’e Gayaza.

Wano Makumbi n’aggyawo oluyimba “Endaga butunde’ olubuulirira abazadde okukebeza abaana baabwe omusaayi nga bakyali balamu okukakasa nga ddala baabwe. Makumbi yafudde ku Lwokuna ku makya ng’egenze e Mulago okumujjanjaba kookolo w’omu byenda.

Kyazuulwa mu 2001 ng’alina kansa ne bamulongoosa mu IHK e Namuwongo mu 2011. Obulwadde bwaddamu okumugonza mu March wa 2015 n’aweebwa ekitanda mu balwadde ba kansda e Mulago mu June 2015 okuva olwo abadde ku ndiri.

Abadde aweereza Ebyemizannyo ku CBS ne pulogulaamu ya Kadongokamu ku CBS ne Bukedde Ttivvi. Era abadde muyimbi wa kadongokamu.

Alese abaana babiri Vivian Namuleme 9, ne Didas Makumbi 5. Buli mwana alina nnyina gattako Bena Nassuuna gw’abadde abeera naye e Kireka-Bbira era abadde amujjanjaba. Ono tamulinaamu mwana.

 bakungubazi nga baaziirana mu maka gomugenzi Abakungubazi nga baaziirana mu maka g’omugenzi.

 

Maama wa Makumbi, Mwajuma Nakayima yategeezezza Bukedde nti Makumbi yatandika okugonda nga yaakafuna ‘omugole’ bwe butamuzaalamu. “Yava buto ng’atawaanyizibwa endwadde. Bwe nnamuzaala mu Lutalo olwagoba Idi Amin mu 1978, Makumbi n’alumbibwa olukusense kata lumutwale. Yali yaakawona n’alwala nnamusuna.

Oluvannyuma n’ayisibwa bubi amambulugga n’akafumba”, bwe yagambye. N’agattako: nnali ndowooza nti omwana wange avudde awabi endwadde azisomose ate n’akwatibwa kookolo.

Bwe yazaalibwa, yasooka kubeera ne nnyina e Kiwologoma-Kira, jjajjaawe azaala nnyina n’amutuuma Isma Makumbi, kyokka bwe yaweza emyaka ena, kitaawe Livingstone Makumbi n’amutwala ewaabwe e Ssumbwe-Bulenga ku lw’e Mityana n’amuggyako erya Isma n’amutuuma Mark Augustine. Wano e Ssumbwe w’aziikibwa leero.

bamu ku bamulekwa ba ark nga bibasobedde Abamu ku bamulekwa ba Mark nga bibasobedde

 

Omulambo gwasuze mu maka ge abayimbi ne bannakatemba gye baalumbidde Pulezidenti Museveni okubasosola bwe yalondamu abamu aboolubatu n’abawa ssente obukadde 400, kyokka abalala n’abaleka bweru. “Lwaki ssente tezaakolwamu kintu kitugasa ffenna.

Ssinga baazimbamu eddwaaliro ffenna ne tuganyulwa”, Mamuli Katumba ayimba kadongokamu amaze ekiseera ng’ali ku ndiri bwe yagambye. Ate Tonny Ssempijja akwanaganya aba kadongokamu n’agamba nti okumanya okusosola aba kadongokamu kugenze wala, ne ku leediyo ne Ttivvi- ennyimba zaabwe ze basing okuwa obudde obutono.

 amwandu ngayoza ku mmunye Namwandu ng'ayoza ku mmunye

 

Emikutu egimu gyatufiisa tebazikuba. Abakulira CBS Michael Kawoya ne Abby Mukiibi baagambye nti Makumbi abadde n’ebitone ebyenjawulo ate byonna n’abikozesa n’asobola okukola ku leediyo, n’ayimba n’okuzannya katemba

MARK Makumbi alese azibikidde abakazi okusomba abaana okubaleeta mu lumbe ng’amaze okufa nga bagamba nti ye ya babazaalamu. Abaana be alese abakebezza omusaayi n’akalaatira Abeekika nti bw’eribaayo aleeta omwana ng’agamba nti wuwe basookanga kumukebeza musaayi. Makumbi okutuuka ku bino, Paddy Bitama yamala kufa ne kizuuka nga yali akaayanirwa abasajja babiri Omugenzi Sam Tamale ow’e Nansana ne ne Peter Njegula ow’e Magere ku lw’e Gayaza. Wano Makumbi n’aggyawo oluyimba “Endaga butunde’ olubuulirira abazadde okukebeza abaana baabwe omusaayi nga bakyali balamu okukakasa nga ddala baabwe. Makumbi yafudde ku Lwokuna ku makya ng’egenze e Mulago okumujjanjaba kookolo w’omu byenda. Kyazuulwa mu 2001 ng’alina kansa ne bamulongoosa mu IHK e Namuwongo mu 2011. Obulwadde bwaddamu okumugonza mu March wa 2015 n’aweebwa ekitanda mu balwadde ba kansda e Mulago mu June 2015 okuva olwo abadde ku ndiri. Abadde aweereza Ebyemizannyo ku CBS ne pulogulaamu ya Kadongokamu ku CBS ne Bukedde Ttivvi. Era abadde muyimbi wa kadongokamu. Alese abaana babiri Vivian Namuleme 9, ne Didas Makumbi 5. Buli mwana alina nnyina gattako Bena Nassuuna gw’abadde abeera naye e Kireka-Bbira era abadde amujjanjaba. Ono tamulinaamu mwana. Maama wa Makumbi, Mwajuma Nakayima yategeezezza Bukedde nti Makumbi yatandika okugonda nga yaakafuna ‘omugole’ bwe butamuzaalamu. “Yava buto ng’atawaanyizibwa endwadde. Bwe nnamuzaala mu Lutalo olwagoba Idi Amin mu 1978, Makumbi n’alumbibwa olukusense kata lumutwale. Yali yaakawona n’alwala nnamusuna. Oluvannyuma n’ayisibwa bubi amambulugga n’akafumba”, bwe yagambye. N’agattako: nnali ndowooza nti omwana wange avudde awabi endwadde azisomose ate n’akwatibwa kookolo. Bwe yazaalibwa, yasooka kubeera ne nnyina e Kiwologoma-Kira, jjajjaawe azaala nnyina n’amutuuma Isma Makumbi, kyokka bwe yaweza emyaka ena, kitaawe Livingstone Makumbi n’amutwala ewaabwe e Ssumbwe-Bulenga ku lw’e Mityana n’amuggyako erya Isma n’amutuuma Mark Augustine. Wano e Ssumbwe w’aziikibwa leero. Omulambo gwasuze mu maka ge abayimbi ne bannakatemba gye baalumbidde Pulezidenti Museveni okubasosola bwe yalondamu abamu aboolubatu n’abawa ssente obukadde 400, kyokka abalala n’abaleka bweru. “Lwaki ssente tezaakolwamu kintu kitugasa ffenna. Ssinga baazimbamu eddwaaliro ffenna ne tuganyulwa”, Mamuli Katumba ayimba kadongokamu amaze ekiseera ng’ali ku ndiri bwe yagambye. Ate Tonny Ssempijja akwanaganya aba kadongokamu n’agamba nti okumanya okusosola aba kadongokamu kugenze wala, ne ku leediyo ne Ttivvi- ennyimba zaabwe ze basing okuwa obudde obutono. Emikutu egimu gyatufiisa tebazikuba. Abakulira CBS Michael Kawoya ne Abby Mukiibi baagambye nti Makumbi abadde n’ebitone ebyenjawulo ate byonna n’abikozesa n’asobola okukola ku leediyo, n’ayimba n’okuzannya katemba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...