TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiikino ekiraamo kya Mark Makumbi ekyakaabizza abakungubazi

Kiikino ekiraamo kya Mark Makumbi ekyakaabizza abakungubazi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2016

Ebintu byange eby'omukisenge byokka byempadde mukyala wange-Kiraamo kya Mark

Ku2 703x422

Abakungubazi nga basabira Mark

EKIRAAMO kya Mark Makumbi kisomeddwa abantu basatu ne kikaabya abakungubazi, kubaddeko Ssalongo Kayembe gwe yakiteresa  eyakisomyeko ennaku z'omwezi n'atulika natema omulanga ,Zambali Bulasio Mukasa naye yakikomye wakati natema omulanga awo  Patrico Mujjuka nakimaliriza wakati mu kwazirana okuva munkumi n'enkumi z'abakungubazi.

EBIRI MU KIRAAMO MAKUMBI LYE YALESE EKYAWANDIIKIBWA NGA 27/10/2015

Nnina abaana babiri Vivian Namuleme 9 ne Didas Makumbi 5,ennyumba 2 eye Kireka-Bbira  eri ku bugazi bwa fuuti 40 ku 40,wembadde nsula n'eya abapangisa esangibwa e Lungujja eri ku bugazi bwa futi 60 ku 60.

Maama Kaye,Nulu Nannyanzi ne Jimmy Gyagenda bennonze nga abakuza babaana bange era nga buli kimu ekinasalwangawo balina kukikola nga bali basatu.

Ebintu byange eby'omukisenge ebisigadde mu nju mbiwadde mukyala mukyala wange Bena Nasuna ebisigadde mbikwasiza bakuza.

Nnina ssente zange mu NSSF nsaba Gy'agenda ne banno muzigobeko muzijjeyo emitwalo 700,000/= muziwe Maama Nulu,500,000/= Maama muto. Emotoka yange Jimmy gitunde ssente oziteke kunyumba ye Lungujja.

Amabanja Nina amabanja  gabantu babiri okuli owa Hardware Wold Ntinda 700,000/= ne Mawejje atunda Leediyo mu Ppaaka empya 1,000,000/=. bwe wabawo omukazi yenna aleeta omwana nti wange mumutwale ku musaayi ate mwebuze ne ku Isa Ssekajja owe Kalambi ne Erias Mugerwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...