TOP

Omusawo awadde essuubi ku mbeera ya Kyomugisha

By Deborah Nanfuka

Added 23rd January 2016

OMUSAWO akulira woodi mwe bajjanjabira abookeddwa asidi e Mulago, agambye nti bafuba okulaba nga Aisha Kyomugisha bamujjanjaba atereere.

Asidi1 703x422

Kyomugisha ng’ali mu ddwaaliro. Ku kkono bw’abadde afaanana.

OMUSAWO akulira woodi mwe bajjanjabira abookeddwa asidi e Mulago, agambye nti bafuba okulaba nga Aisha Kyomugisha bamujjanjaba atereere.

Dr. Robert Ssentongo yategeezezza nti wiiki ejja w’eneetuukira ajja kuba afunyewo enjawulo. Kigambibwa nti, Kyomugisha, bba Imran Kaliisa yamuyiiridde asidi mu maaso.

Mu kiseera kino talaba nga n’ekifuba n’amabeere byakoseddwa nnyo. Muganda wa Kyomugisha, Edina Ayitamye amujjanjaba ku kitanda e Mulago, yategeezezza nti abafumbo bano baafunamu obutategeeragana era muganda we n’asalawo okuviira omusajja.

Ekiseera kyatuuka Kaliisa n’afuna ekirowoozo nti Kyomugisha yandiba ng’alina omusajja gw’ayagala mu Owino gye yali atundira engatto kwe kumulumba n’amuyiira asidi.

Ababiri bano bombi baava Rwanda okujja mu Uganda nga babadde baakamala emyaka egisukka mu musanvu.

Kaliisa yadduse era poliisi emunoonya. Kiteeberezebwa okuba nga yazzeeyo e Rwanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....

Temu 220x290

Alondodde mukazi we gye yanobera...

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.