TOP

Gavt. ekkiriza etya Abachina okutembeeya obunyama?

By Joseph Mutebi

Added 24th January 2016

Abasuubuzi bano abaakulembeddwaamu ssentebe waabwe Godfrey Kirumira baategeezezza nnankulu wa URA, Doris Akol nti kyennyamiza okusanga Omuchina ku mmotoka ya kabangali ng’ayimba emiyembe n’okwokya obunyama ekiro mu bubuga obwetoolodde Kampala ng’ate osuubira nti bamusiigansimbi bano bandibadde balina kubeera nga bazimba makolero okwongera okuwa abantu baffe emirimu.

Wano1 703x422

Abagagga ba Kwagalana era abasuubuzi b’omu Kampala ng’akulira URA Akol, abakwasa engule okubeebaza okubeera abasaale mu kuwa omusolo.

ABAGAGGA ba Kwagalana Club basisinkanye abakulira ekitongole ky’omusolo ekya URA ne babasaba babayambe ku Bachina abanaku abeeyongedde obungi mu Uganda ng’ate tebalina kye bongera ku byanfuna by’eggwanga ne batuuka n’okutembeeya emiyembe n’okwokya obunyama ku nguudo.

Abasuubuzi bano abaakulembeddwaamu ssentebe waabwe Godfrey Kirumira baategeezezza nnankulu wa URA, Doris Akol nti kyennyamiza okusanga Omuchina ku mmotoka ya kabangali ng’ayimba emiyembe n’okwokya obunyama ekiro mu bubuga obwetoolodde Kampala ng’ate osuubira nti bamusiigansimbi bano bandibadde balina kubeera nga bazimba makolero okwongera okuwa abantu baffe emirimu.

Bino Kirumira yabyogeredde mu lukiiko abakulira URA mwe baabayitidde okubasiima ng’abagagga era abasuubuzi abali mu kibiina kino okubeera ekyokulabirako eri abasuubuzi abalala mu ngeri gye bawaamu omusolo n’okuwagira ekulaakulana ya Gavumenti.

Omukolo gwabadde ku Imperia Royal ku Lwokutaano era Akol kwe yasinzidde n’alabula abasuubuzi abakukusa ebyamaguzi nga tebiwadde musolo nti kiremesa eggwanga okugenda mu maaso.

Yagambye nti bakutte abasuubuzi bangi naddala abayingiza emipiira gy’emmotoka ng’omupiira gumu bagutaddemu emirala esatu n’agamba nti kino kiginafuya era obubenje bungi bweyongedde ku nguudo nga buva ku mipiira emibi nga gino.

Yalabudde abasuubuzi ebweru w’eggwanga naddala mu China abajingirira liisiti ze baguliddeko ebintu bye bagula ebweru Aabachina ne babawa ezitali nzijuzeemu ne bateekako ssente entono okugeza konteyina eya ffuti 40, ne bagamba nti bagiguze ddoola 5000, ng’ate ya ddoola 50,000.

Abasuubuzi baamuloopedde abakozi ba URA ababateeka ku nninga nga babasaba empapula kwe bazze basuubulira ebintu mu nnaku bbiri ekimenya amateeka ne babasuubiza n’okukomya bizinensi zaabwe kye yagambye nti agenda kubakangavvula.

Akol yasiimye aba Kwagalana okusomesa aba KACITA abaali bakuma mu basuubuzi babatwale mu kkooti nga babakutte bakukusa ebintu emirundi egisukka mu 10, nti kino KACITA yali ekola kikyamu okulwanirira abatasasula musolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi