TOP

Ensonga lwaki omwavu ajja kusiitaana okugenda mu Ggulu

By Benjamin Ssebaggala

Added 24th January 2016

Ekiseera kino omuntu omwavu atunuulirwa nti ayinza okulemwa okuyingira Eggulu ne kikontana n’ebyo Yesu bye yayigiriza ng’agamba nti omugagga okuyingira Eggulu kijja kubeera kizibu ng’ehhamiya okuyita mu liiso ly’empiso.

Ggulu 703x422

Paasita Male

BULI muntu ku nsi akolerera kuyingira Ggulu kyokka omuntu asigaza ekibuuzo nti ku mugagga n’omwavu ani nnannyini Bwakabaka bwa Katonda?

Ekiseera kino omuntu omwavu atunuulirwa nti ayinza okulemwa okuyingira Eggulu ne kikontana n’ebyo Yesu bye yayigiriza ng’agamba nti omugagga okuyingira Eggulu kijja kubeera kizibu ng’ehhamiya okuyita mu liiso ly’empiso.

Abakulembeze mu nzikkiriza ez’enjawulo bakulambululira ensonga ezigenda okulemesa omwavu okuyingira Eggulu naddala mu kyasa kino.

FAAZA ALAMBULUDDE:

Faaza Ambrose J. Bwangatto owa St. Mbaaga's Major Seminary Ggaba annyonnyola ng’asinziira mu byawandiikibwa nti, mu Matayo 19:16 – 26, Omuvubuka omugagga yajja ewa Yezu n’amubuuza ky’abeera akola okusobola okuyingira Eggulu.

Yamwanukula n’amulagira okukwata ebiragiro bya Katonda era n’amulagira agende atunde byonna by’alina ssente azigabire abaavu, ekyanyiiza omuvubuka ono.

Mu Maliko 10:17 – 22 yaddamu okumuwa ekiragiro kye kimu n’ayanukula nti ebiragiro yabikwata era Lukka 18:18-23 n’akiddamu kyokka eky’okutunda ebintu kyamunyiiza n’amwabulira.

Omwavu okuyingira Eggulu kijja kukaluba kyokka Yezu yatuwa emitendera ena omuntu gy’alina okuyitamu okuyingira eggulu okuli:

l Okukwata ebiragiro bya Katonda.

l Okwewala okwesiba ku bintu omuntu abeere awo ng’obulamu bwe bulamulwa byabugagga.

l Okubeera abeekisa nga tugaba n’okuyamba

l Okumugoberera.

Omutukuvu Paapa John Paul II yagamba nti tewali muntu ayinza kugamba nti mwavu atalina ky’asobola kugaba era tewali ayinza kugamba nti mugagga alina buli kimu nga talina kye yeetaaga kuva ku balala.

Omwavu ssinga alemwa okugoberera emitendera Yezu gye yawa, kijja kumukaluubirira okuyingira Eggulu.

 

OMUSUMBA SOLOMON MALE OWA ARISING FOR CHRIST:

We baawandiikira Bayibuli tewaali busuubuzi bwa nsimbi era abagagga be baakozesanga abaavu olwo abaavu ne babeera nga basaba Katonda mu bukkakkamu nga tebalina kye balulunkanira kuba baabawanga ebyokulya n’okunywa ne bakkuta.

Omwana w’omuddu bwe yakulanga ng’atandikirawo okukola emirimu gya bakadde be sso ng’abagagga bakuuma obugagga bwabwe tebaagala kubugabirako muntu yenna beeyagaliza bokka.

Omuntu bw’atuuka, yeerabira gy’avudde ky’ova olaba nga Bannabyabufuzi Katonda bamwogerako mu kifo we bamwetaagira wokka n’osanga omufuzi ng’agenze mu kkanisa ate n’atandika okubuulira abasumba enjiri kuba yeeraba ng’abasinga mu buli kimu.

Edda ng’omwavu okuyingira eggulu kimwanguyira kuba baalinga bamativu ne kye bafunye naye ekiseera kino tebakyasiima buli kiseera abeera mu kwemulugunya tasobola kwetuusaako byetaago bya bulamu nga bw’abyagala.

Omwavu bwe yalwalanga ng'anoga eddagala n’anywa naye mu kiseera kino abeera mu kuwankawanka ng’anoonya obujjanjabi ebya Katonda tabirowoozaako n’osanga ng’asibidde mu ssabo.

 

Abalala basalawo beetunde mu buddu oba bamutta bamutte naye ng’afunye by’ayagala.

Ekiseera kino omugagga alowooza ku bugagga bwe talowooza nti Katonda y’abimuwadde, alowooleza mu maanyi ge nti awali ssente talina ky’alemwa. Omukulembeze agenda mu balokole bw’atuukayo y’ayagala ababuulire enjiri.

Ebyenfuna byefuze ensi buli kiseera omwavu alowooza kufuna n’agwa mu bikemo n’omugagga aluvubanira kwongera ku by’alina.

Omugagga ayingira ekkanisa n’enjiri gye babadde bagenda okubuulira n’ekyuka kuba balina kye basuubira okumuggyamu.

Omwavu abeera mu kkanisa si lwa kusaba Katonda wabula kutuusa oluwalo ng’alowooza nti bw’alifuna obuzibu banaamuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...