TOP

Lubowa yavudde mu P4 n’afuna 12 mu PLE: Kituufu okubuusa omwana ebibiina?

By Olive Lwanga

Added 25th January 2016

Calvin Mathias Lubowa, alina emyaka munaana. Yandibadde agenda mu P5 omwaka guno, wabula yabuusibwa ebibiina bibiri n’akola ebigezo bya P.7 ate n’abiyitira waggulu!

Mwana1 703x422

Calvin Lubowa yafunye 12 mu PLE

Calvin Mathias Lubowa, alina emyaka munaana. Yandibadde agenda mu P5 omwaka guno, wabula yabuusibwa ebibiina bibiri n’akola ebigezo bya P.7 ate n’abiyitira waggulu!

Lubowa abadde muyizi ku Victorious Education Services era nga gye yakolera ebigezo bye ebya PLE omwaka oguwedde.

Nnyina Rhoda Kwagala, nga musawo era omutuuze w’e Mutungo annyonnyola ekyavaako omwana ono okubuusibwa ebibiina bibiri biramba:

Mu bulamu bwe, Lubowa yakula tatya bantu, nga mujagujagu, era nga bw’omubuuza ekintu akuddamu aboggoka, nga mukambwe nnyo.

Abasomesa bang'ambanga nti omwana twamukuza bubi, nti tetwamukulizaamu mpisa. Ye nga bw’aba tayagala kintu akubuulirirawo.

Bwe yali mu nassale, abasomesa be ne batugamba nti omwana alina enjawulo nnene nnyo ku baana banne.

Abasomesa babeeranga basomesa nga ye ali mabega azannya oba okusoma ebintu ebibye. Wabula ng’olunaku bwe luggwaako nga bw’abuuzibwa bye basomesezza nga buli kimu akikuba budinda.

Bwe yatuuka mu P.3 nga tulaba omwana alina obusungu bungi, talina bugumikiriza, tazannya na baana ba myaka gyen’ebirala.

Lumu yasituka n’abuuza omusomes we Christine Atizuyo nti, “Lwaki essomero lituliisa emmere emu ffenna ate nga buli omu alina omusaayi gwa njawulo? Nze nasoma akatabo akalaga nti buli muntu alina okulya emmere ekwatagana n’ekika ky’omusaayi gwe! Essomero limanyi mateeka g’okuliisa omuntu?”

Lubowa bwe yabuuza omusomesa. Alina ebibuuzo bye yabuuza omusomesa we ebyamutabula era n’asalawo ensonga okuzitwala mu bakulu b’essomero okwali Principle w’essomero Dr. Barbra Ofwono Buyondo, eyatuwa amagezi okumutwalako ew’omukugu okumukebera kubanga twalowooza nti oba alina ekikyamu ku bwongo!” Kwagala bw’ayogera ku mutabani we Lubowa.

Lubowa baamutwala ew’omukugu akola ku bantu abaliko obulemu (special needs, Language and Speech consultant) Dr. Eria Paul Njuki. “Ono yamukebera era n’atuubulira nti omwana talina mutaawana gwonna wabula mugezi nnyo.

N’atuwa amagezi ag’okumubuusa ekibiina n’atulagirira n’engeri y’okumukwatamu okusobola okumuyambako okukola obulungi. Omusomesa we Christine Atizuyo agamba nti Lubowa bwe baabeeranga mu kibiina nga basomesa, ye ng’abeera mabega ng’asoma obutabo bw’ebyafaayo era bino abitegeera nnyo.

 ubowa ngali ne r ria aul juki eyamukebera u ddyo hoda wagala  omujjanjabi wa  mu ddwaaliro e isugu no ye maama wa ubowa Lubowa ng’ali ne Dr. Eria Paul Njuki eyamukebera. Ku ddyo, Rhoda Kwagala , omujjanjabi wa KCCA mu ddwaaliro e Kisugu. Ono ye maama wa Lubowa.

 

Bw’omubuuza ekibuuzo kyonna ku byafaayo, akataayi kaba tekannasala nga yakuzzeemu dda! Nga tusinziira ku magezi g’omukugu, Lubowa twamubuusa n’agenda mu P4. Kyokka ne mu kibiina kino twamuwa okusoma ebitabo eby’ekibiina ekya P5 n’abisoma mu lummula era n’abitegeera bulungi” Atizuyo bw’annyonnyola.

Yasoma P6, ttaamu yokka ne tumuyisa okugenda mu P7. Mu kusoma kwe kwonna okwa pulayimale, Lubowa abadde asoma bitabo bya Yunivasite ng’essira asinga kuliteeka ku byafaayo.

Amanyi ebyafaayo byonna kumpi bya buli ggwanga. Dr. Barbara Ofwono Buyondo agamba nti, “ Okusinziira ku magezi ge amangi, Lubowa tatera kuzannya na baana banne b’asoma nabo mu kibiina.

Alina omukwano n’abasomesa, ate si bonna wabula abo bokka abamubuuza ebibuuzo naye b’asobola okubuuza by’aba ayagala.”

Lubowa yafunye obubonero 12 mu bigezo bya PLE ebya 2015. Nnyina Kwagala agamba nti bo ng’abazadde, basanyufu kubanga omwana waabwe yayise ebigezo era eky’okumubuusa ekibiina tebakirinaako buzibu.

“Kino kirungi kubanga kiyamba abazadde okukekkereza n’okutereka ezo ezandibadde zimusasulira mu bibiina ebirala. Kiyamba omwana okusoma nga muto n’amala mangu omutendera ogumu,” bwe yagambye.

Ekyebuuzibwa ddala kiba kituufu okubuusa omwana ekibiina? Gye bujja tekiyinza okumukosa?.

Elizabeth Kibuuka, omukugu mu mbeera z’abantu okuva ku Kampala International School of Uganda (KISU) agamba nti ekizibu ky’abaana abagezi ennyo okusinga ku kibiina kye babaamu batera okwetamwa amangu okusoma ne batamalaako.

“Omwana bw’abuusibwa ekibiina abeera tassaayo nnyo mwoyo ku bisomesebwa, Tafaayo kukola bibuuzo bimuweereddwa kukola ng’azzeeyo awaka. Okuzannyira mu kibiina oba okutandikawo obuvuyo mu banne. Ekizibu ekibaawo nti mubeera mumutadde mu ddaala ye mw’alaba nga tagya,” bwe yagambye.

Mark Byaruhanga, omukugu mu kutegeka ebyensoma n’ebyenkulaakula mu yunivasite e Makerere agamba nti okubuusa abaana ebibiina ekikulu kiba kya kukula. “Omwana ayinza okuba nga mugezi nnyo naye nga muto mu mubiri ne mu bwongo,” Byarugaba bw’agamba.

Ekiyinza okuleetawo obuzibu mu mbeera eza bulijjo ng’okumutulugunya oba okumutwala ng’omwana omuto mu banne. “ bwe yayongeddeko. Robert Guma, alina diguli eyookubiri mu kuteekateeka ebyensoma agamba:

Ekibi ky’okubuusa omwana ebibiina, ayinza awulira obubi ssinga asanga banne abamusoomooza oba ekintu kyonna ekimusoomooza.

Abaana abagezi batambula ku ssomero, nga beewulira eryanyi, naye kimuyisa bubi ssinga taweebwa mukisa kulaga nti y’asinga.

Ekintu kino kibi kubanga kittattana obukugu bw’omwana mu biseera eby’omu maaso. Agamba nti okubuusa abaana ebibiina kyandibadde kikendeezebwa oba obutabeererawo ddala kubanga kivaako abaana bano okulowooza nti basukkulumye nnyo ne kibalemesa n’okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Okwemanya kiyinza okubalemesa okuteekayo omwoyo mu kibiina ne bafuna obubonero obumalamu amaanyi. Naye ku ludda olulala, abaana bano abagezi ababuusibwa ebibiina kiyinza okusobozesa abalala okufaayo okukola ennyo nabo ne bayita bulungi mu kibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...