TOP

Gavt. enaatandika bonnabasome wa nassale - Minisita Muyingo

By Musasi wa Bukedde

Added 25th January 2016

MU kaweefube w’okulinnyisa omutindo gw'ebyenjigiriza, minisitule y'ebyenjigiriza eteekateeka okutandika nassale ku masomero ga Gavumenti aga pulayimale.

Muyingo 703x422

Minisita J C Miyingo.

MU kaweefube w’okulinnyisa omutindo gw'ebyenjigiriza, minisitule y'ebyenjigiriza eteekateeka okutandika nassale ku masomero ga Gavumenti aga pulayimale.

Minisita w'ebyenjigiriza ebisookerwako, J. C. Muyingo annyonnyola bw'ati ku nteekateeka eno; “Gavumenti bwe yali ereeta enkola ya bonnabasome yali ekitadde ku baana okuviira ddala ku myaka 4 ne 5 nga bano be baana abatandika obutandisi okusoma nga batandikira mu nassale okutuuka mu S.6.

Kyokka weesanga ng'amasomero gaffe agasinga tegalina bibiina bino (nassale) olwo ne tuba nga Gavumenti yakirekera amasomero ag'obwannannyini okukibeeramu.

Obuzibu mu kino buli nti amasomero g'obwannannyini agasinga gali nnyo mu bibuga olwo abaana b'omu byalo ne basigalira emabega.

Olw'ensonga nga eno n'endala, minisitule yaleeta ekiteeso eri Gavumenti ng'esaba okutandikawo nassale ku masomero gaffe.

Kati tulindiridde kakiiko kutuula katusalirewo ddi lwe tutandika n'omuwendo gwa ssente ogwetaagisa okukola omulimu guno. Masomero kika ki na bisaanyizo ki? Amasomero gonna aga pulayimale nga Gavumenti gaakuteekebwako nassale.

Tugenda kugattako okusaba ab'amasomero g'obwannannyini okwongera nabo okuzimba nassale.

Okuteekateeka abaana obulungi okugenda mu pulayimale kirimu ebizibu bingi okugeza, bw'otunuulira abayizi abaasinze okukola obubi ennyo mu bigezo bya PLE bEebo abava mu bifo ebitalina nassale nga n'ebifo bino ebisinga bya mu byalo.

Ekirala, omwana bw'atateekebwateekebwa obubi ng'ayingira pulayimale, kimuviirako okudduka mu ssomero kuba tafuna musingi ogwo ogumunnyonnyola obukulu bw’ekintu ky’aliko.

Kibaviiarako obutategeera bulungi bibasomesebwa ng‘ebintu babikwata bukusu. Bino byonna bye twagala okulwanako tulabe ng'omwana wa Uganda afuna okusoma okwannamaddala okuviira ddala wansi mu nassale.

Obuzibu bw'ebikozesebwa? Ebikozesebwa si kizibu n’akamu lwa nsonga nti buli pologulaamu ya Gavumenti gy'efulumya ebaako embalirira y'ensimbi.

Gavumenti erina obusobozi obutambuza pologulaamu eyo kubanga minisitule y'ebyensimbi etuwa obukakafu nti ssente ezo zigenda kufunika.

Obuzibu bw'ebikozesebwa obubaddewo mu pulayimale nabwo tutandise okubikolako okugeza, ng'okuzimbira abasomesa amayumba, okuwa amasomero ebitabo ebikozesebwa mu kusomesa n'ebirala.

Amasomero gagenda kuweebwa eby'ensomesa kwe banaatambulira. Omuzadde ye alina kukola kimu kya kuleeta mwana na kumugulira yunifoomu kyokka.

Olw'obwetaavu obuliwo, ekintu kino kyandibadde kyatandika dda naye tulina okumala okweteekateeka obulungi mu bintu ng'okubangula abasomesa, oleeta ebikozesebwa ebimala n'ebirala.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afuddebulengabyjmutebi103945 220x290

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala...

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...