TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana bambuuza ewa kitaabwe simanyi kyakubaddamu

Abaana bambuuza ewa kitaabwe simanyi kyakubaddamu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2016

Abaana bambuuza ewa kitaabwe simanyi kyakubaddamu

Muz2 703x422

Mapeera n’abaana, bba Omugenzi Phillip

DECEMBER, 31, 2013 terulinva ku mutima olw’ekiyongobero kye lwandekera ne famire yange. Essanyu lye twalina lyafuuka lufumo n’ekyokulya kitubula ne tusulirira amazzi.

Nze Shifah Aliah Mapeera, 32, nga ndi mutuuze w’e Salaama mu Kigagga Zooni. Baze yafuna akabenje ku lunaku olwo n’afa nga January 2, 2014, waayita emyezi esatu nange ne ngwa ku kabenje amagulu ne bagawanika kati ntambulira ku byuma.

Obulamu bwe mpitamu kati buzibu, ekiro kya December 31, 2013 nali ndaba mawulire nga bwe nninda omwami wange okudda ne nfuna ssimu. Nalowooza nti akubye kuntegeeza nga bw’agenda okuba ekikeerezi hhenda okuwulira ng’eddoboozi eririko limbuuza oba nnyini ssimu eno mmumanyi. Olwawulira bino enjoka zansala omulundi gumu ne nsiriikirira.

Eyali ku ssimu yaddamu n’ambuuza nti, ‘Nnyabo omumanyi?’ kwe kudda engulu ne mmuddamu nti ye taata w’abaana.

Yantegeeza nga bw’afunye akabenje, namusaba amutwale mu ddwaaliro eriri okumpi. Baamuddusa ku Kadic Clinic hhenda okumutuukako ekiro ekyo nga teri muntu. Nga January 2, 2014 baze Benard Phillip 69, yava mu bulamu bw’ensi eno n’andekera abaana babiri ng’ekyennaku mmanyi kimu nti nzaalwa ya Bungereza.

Omukwano gwe yandaga gwanziba amaaso ne sifaayo kumumanyaako bisingako ng’abooluganda. Engeri baze gye yali amaze ebbanga kuno ng’era yalaama kuziikibwa kuno, bakama be baakubira omu ku baana be e Bungereza n’abawa olukusa okumuziika kuno era yaziikibwa ku kkanisa ya St. Luke e Ntinda.

Okuziika kwaggwa bulungi naye nga mu mutima siteredde, nneebuuza kye ndigamba abaana nga bambuuzizza abooluganda lwabwe gyebasibuka. Mba nkyebuuza we hhenda okutandikira n’abaana bange, mba hhenda ku mulimu gye ntundira engoye enkadde ku makya ga March 24,2014 nga ndi ku bodaboda, mmotoka ekika kya Rav4 nnamba UAU 895N n’etutomera e Kabalagala.

Eyali agivuga yagezaako okudduka ne bamukwata mba ndi mu ddwaaliro e Mulago ne bamuleeta gye nali nzijanjabirwa n’asasula ez’eddwaaliro. Nga wayise wiiki bbiri, nasaba okusiibuulwa mu ddwaaliro kuba awaka nze nali byonna ate ng’omutima gunnuma okulaba abaana bange.

Ekirala mba ndi mu bulumi mu ddwaaliro ne baleeta ekipapula nti nzigyeyo omusango. Yampa obukadde busatu era olw’okuba nali mu bulumi nakkiriza ssente ne nzikwata banzijanjabe ne nteeka omukono ku kipapula.

Bwe bansiibula abasawo bah− hamba okuddangayo buli luvannyuma lw’ennaku nnya okufuna masaagi mu magulu. Lwe nasooka okuddayo waliwo omusawo eyampa amagezi nti hhende ku ddwaaliro lya Corsu be basinga okukola ku bantu abamenyese.

Nneekwataganya ne hhendayo nga July 25, 2015 abasawo ne bakantema nti ndi waakuddamu kulongoosebwa kuba eggumba lyasesebbuka ennyama evunda. Okulongoosebwa kuno kwali kwa bukadde 80 era nga bahhamba kwa mwezi guno naye we nziggya ssente sirabawo, kyokka nga njagala kutereera nsobole okukolerera abaana bange.

Nsaba abazirakisa banziruukirire oba waliwo eyali amanyi baze annyambe mmanye gye ntwala abaana bange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.