TOP

Ssessanga bamukutte lwa kufera obukadde 300

By Vivien Nakitende

Added 9th February 2016

Ssessanga, agambibwa nti, asuubula n’okutunda ettaka n’amayumba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ye yakwatiddwa ku Lwomukaaga bwe yabadde agenzeeko ku bbiici e Ntebe okulya obulamu.

Kuba1 703x422

Ssessanga ku poliisi e Kitebi. Ebifaananyi bya Vivien Nakitende

POLIISI y’e Kitebi ekutte Ronald Ssessanga gw’erudde ng’enoonya nga kigambibwa nti yafera abantu abawerako ensimbi ezisoba mu bukadde 300.

Ssessanga, agambibwa nti, asuubula n’okutunda ettaka n’amayumba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ye yakwatiddwa ku Lwomukaaga bwe yabadde agenzeeko ku bbiici e Ntebe okulya obulamu.

Abantu be yafera kuliko, Robert Kasule w’e Kitebi gwe yaggyako ensawo za seminti 785 ezibalirirwaamu obukadde 25.

Kasule agamba nti yatandika okukolagana ne Ssessanga mu July wa 2015 bwe yagula poloti okumpi ne w’akolera e Kitebi naatandika okuzimba. Yatandika okumugulako seminti era ng’asasula za buliwo.

“Namussaamu obwesige era ennyumba yali tennaggwa n’atengeeza nti aliko poloti endala wazimba kalina. Olwo n’atandika okusindika abavubuka okunona seminti nga yatwalanga obusawo obutakka wansi wa 100 buli lunaku, olw’okuba yali andaze nti asasula bulungi saamwekengera.

We nnategeerera nti anzibye namukubira essimu nga tagikwata kwe kuddukira ku poliisi ne nzigulawo omusango ku fayiro SD:15/04/01/2016. era netutandika okumunoonya.

Dr. Joshua Agaba alina edduuka eritunda eddagala, Orion Pharmacy e Mengo yamufera obukadde 150 nga zaali za kumuguza nnyumba.

 ku kkono obert asule ohn aul ayondo nomukyala abalumiriza sessanga okubafera OKUVA ku kkono; Robert Kasule, John Paul Kayondo n'omukyala abalumiriza Ssessanga okubafera.

 

Agamba nti yamutwala e Lugala n’andaga ennyumba nga nasooka kumuwaako obukadde 51 mu mpeke, endala ne ntandika okuzimuwaayo mpolampola.

Nnali naakamuwaako obukadde 151 nagenda okulambula ku nnyumba ne nsangayo abantu abalala abagirambula era ne bantegeeza nti baagiguze.

Bwe nnamukubira essimu n’anneegaana nti tammannyi era tandabangako, naloopa ku poliisi ya CPS era nabo babadde bali mu kumunoonya.

Ate John Paul Kayondo w’e Kitebi agamba nti, Ssessanga yamunyaga obukadde 10, nga yamenya ennyumba ye n’atwala ekyalaani wamu n’ebintu byonna bye yalina ng’agamba nti yali agigize. Ensonga yazitwala ku poliisi nga babadde bamunoonya.

Ssessanga gwe balumiriza obufere yeewaanidde ku bamuvunaana nga yakakwatibwa nti, “Ye musajja mugagga nnyo era omu ku basinga mu Kampala, alina amayumba agasulwamu agasukka mu 20

Yagambye nti abadde yaakatunda ettaka lya yiika emu e Kitebi akawumbi kamu n’ekitundu ng’alowooza nti bafere ze baagala okumunyagako.

Yagambye nti okumukwata yabadde n’obuwumbi butaano nga bakanyamabe baazitaasizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba