TOP

URA ezzizzaayo emmotoka za buwumbi ezabbibwa e Bungereza

By Joseph Makumbi

Added 10th February 2016

Emmotoka zino kuliko ez’ebika eby’enjawulo omuli; Range Rover, Audi, BMW, Lincolin, Nissan Navara n’ebika ebirala.

Londa1 703x422

Ezimu ku mmotoka ezazziddwaayo e Bungereza.

EKITONGOLE kya URA kiwaddeyo emmotoka ez’ebbeeyi 24 ezibalirwamu obuwumbi bw’ensimbi nga zino zabbibwa Bannayuganda mu Bungereza ne zireetebwa kuno mu bukyamu.

Emmotoka zino kuliko ez’ebika eby’enjawulo omuli; Range Rover, Audi, BMW, Lincolin, Nissan Navara n’ebika ebirala.

Ezimu zibadde zivugibwa bannaggwadda mu Kampala, era eggulo (ku Lwokubiri) zaakwasiddwa omubaka wa Bungereza mu Uganda, Alison Blackburne, ku kitebe kya Uganda Revenue Auntority (URA) e Nakawa.

Abakugu okuva mu kitongole kya gavumenti ya Bungereza ekya ACPO Vehicle Crime Intelligence (AVCIS) okuli Nathan Ricketts ne Mark Haigham baasoose kwekebejja mmotoka zino era zonna ne bakakasa nti zabbibwa waabwe.

Gye buvuddeko, gavumenti ya Bungereza yannyonnyola engeri abagezigezi gye bayingira amaka g’abantu ne babba emmotoka ne zivugibwa okutwalibwa e Bufalansa gye bazitikkira mu konteyina ne bazitwala mu kyondo kya Buwalabu oluvannyuma gye zitikkibwa ku nnyanja okutuuka e Mombasa mu Kenya, olwo ne zivugibwa okuyingira Uganda.

Dicksons Kateshumbwa, kaminsona wa URA, akola ku byamaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga, yagambye nti ezimu ku Range Rover ezaakwatibwa baazisanga mu kkonteyina nga zibikkiddwaako emifaliso era beeyambisa ebyuma ebirengera munda okuzikwata.

Emmotoka endala, ababbi babadde bazireeta nga beefudde abazitwala mu mawanga okuli DR Congo ne South Sudan kyokka ne bazitunda mu Uganda.

Benson Oyo-Nyeko, amyuka dayirekita wa poliisi y’ensi yonna mu Uganda, yagambye nti ekibinja ky’ababba emmotoka zino kinene nnyo era enkolagana ennungi ne gavumenti ya Bungereza yeetaagisa mu kubalwanyisa.

Akulira URA, Doris Akol, yasabye ebitongole ebirala okubakwasizaako mu kulwanyisa ababbi ate omubaka wa Bungereza, Blackburne yagambye nti gavumenti ye ya kuyambako abaserikale ba Uganda okutendeka abaserikale ba kuno obukodyo bw’okuzuula emmotoka enzibe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...