TOP

Omulangira Nakibinge alondeddwa okukulira Cairo Bank

By Ahmed Mukiibi

Added 11th February 2016

Omulangira Nakibinge alondeddwa okukulira Cairo Bank

Ban2 703x422

Nnaabagereka (ku ddyo) ng’ayogerako eri abakozi ba Cairo International Bank eggulo. Owookubiri ku ddyo ye Mulangira Nakibinge.

OMULANGIRA Kassim Nakibinge Kakungulu Mbuga alondeddwa okukulira Cairo International Bank mu nkyukakyuka empya ezikoleddwa mu bbanka eno. Yalondeddwa olukiiko olugifuga okudda mu bigere bya Nabil Ghaneem, enzaalwa ya Misiri, eyawummudde. Emirimu yagitandise ku ntandikwa y’omwezi guno.

Eggulo ku Lwokusatu, Nnaabagereka Sylvia Nagginda yakyaliddeko Omulangira Nakibinge mu ofiisi ye ku ttabi ekkulu erya Cairo Bank ku Kampala Road n’amuyozaayoza okulondebwa mu kifo eky’obuvunaanyizibwa.

Nakibinge yali yawummula eby’okukola ku nkomerero ya 2013 oluvannyuma olw’okuweerezaako mu Tropical Bank Ltd ne Bbanka Enkulu eya Uganda wabula yategeezezza Bukedde nti aboolukiiko olufuga bbanka ya Cairo be baamusabye abayambeko. “Nkomyewo mu buweereza okulaba nti bbanka ya Cairo tugizza ku mutindo.

Njagala okukakasa Bannayuganda nti bbanka eno eri mu mikono mituufu, bakasitoma baffe tugenda kubaweereza n’obuvunaanyizibwa,” bwe yagambye n’agattako nti bbanka yalina ebizibu gye buvuddeko olw’ensimbi za Pensoni ezabbibwa kyokka ebyo baabivvuunuse era bagiddukanyiza ku mateeka n’ebiragiro bya Bank of Uganda.

“Tulina obuwumbi obusukka mu 100 nga ‘kapito’ era abakulira bbanka eno bankakasizza nti bagenda kwongeramu ensimbi,” Nakibinge bwe yagambye eggulo. Bbanka eno yaggulawo mu Uganda mu 1995 ng’erina amatabi mukaaga; ku Kampala Road, Kikuubo, Kansanga, Bugoloobi, Quality Hill n’e Kapeeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja