TOP

Ziizino ensonga lwaki oteekeddwa okwekebejja Condom nga tonnagikozesa

By Ruth Nazziwa

Added 11th February 2016

Ziizino ensonga lwaki oteekeddwa okwekebejja Condom nga tonnagikozesa

Con2 703x422

Omukozi w’ekibiina ekivunaanyizibwa ku by’okuzaala ng’agabira abatambuze kondomu okuziyiza embuto n’endwadde z’ekikaba.

William Sewankambo ow’e Sseguku agamba nti, emirundi ebiri gye yaakakozesa kondomu, tasuubira kwongerako mulala olw’ebyo ebyamutuukako. Anyumya bwati: “Omulundi gwange ogwasooka okukozesa kondomu nafuna okusiiyibwa ku busajja bwange.

Okusiiyibwa kuno kwatandika waakayita eddakiika nga ssatu nga twakatandika akazannyo. Kino kyampaliriza okulekera awo kye nali nkola ne mbuuza munnange oba naye yali afunye ekizibu ng’ekyange, wabula ye tewali kyali kimutuuseeko.

Nagenda mu kalwaliro akaali okumpi ne mbuulira omusawo ekyali kintuuseeko n’ahhamba nti kirabika nali nkozesezza akapiira akaali kayiseeko ennaku nga kye kyali kivuddeko obuzibu buno. Yampa amakerenda ne ngamira kyokka bwe nadda awaka nakebera ku kapapula k’akapiira ne ndaba ng’ennaku zaali zikyaliko awo ne binsobera.

Omulundi ogwaddako nakyusa mu kika ky’akapiira era ne nfuna ekizibu ky’ekimu, era okuva olwo nasalawo okwesonyiwa obupiira wadde obulamu bwange ndaba buli mu matigga”. Ate Miriam Mirembe (si mannya ge amatuufu) agamba nti, ye ekyamuggya ku bupiira, kulumizibwa mu ndira buli lwe yabukozesanga era okuwona yamalanga kugenda mu ddwaaliro.

Kyokka abasawo tebaamugambanga kyali kimuleetera okubeera mu mbeera eyo. Wakati w’ennaku z’omwezi 10 ne 16 omwezi guno, tukuza ennaku z’okumanyisibwa ku bikwata ku kondomu n’endwadde ez’ekikaba.

Ekimu ku ngeri gye tusobola okwewalamu endwadde zino kwe kukozesa kondomu (obupiira), wabula gy’okozesa ogyekakasa? Ezimu zaggwaako ennaku, endala za bicupuli n’ezimu olw’okuterekebwa obubi zifa ne zitatuukiriza kigendererwa kyo. Buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukuuma obulamu ng’okozesa kondomu kuba kiyamba okuziyiza n’okusaasaanya endwadde z’ekikaba kuba zino zitambuzibwa ssinga weegatta n’abulina nga tokozesezza kapiira.

Obulwadde buno businga kwegiriisiza mu bavubuka n’abantu abettanira omukwano ogw’akajegere (sexual network). Dr. Joel Emetu, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’ekikaba mu ddwaaliro ly’abavubuka n’abaana erya Nurture Africa annyonnyola nti ezimu ku yinfekisoni omuntu z’afuna okuyita mu kwegata mulimu: Siriimu, kabootongo, enziku, ensundo z’emabega, obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B), embaluka, kandida, kookolo w’omumwa gwa nnabaana n’endala.

 usawo akirijja ngalaga bwe bambala kondomu yabakyala  u katono bwe zibeera mu pakiti yaazo Musawo Nakirijja ng’alaga bwe bambala kondomu y’abakyala. M u katono bwe zibeera mu pakiti yaazo.

 Endwadde z’obukaba zirwaza nNabaana Dr. James Kafeero, omukugu mu kujjanjaba kookolo mu Uganda Cancer Institute (UCI) e Mulago agamba nti okunoonyereza kulaga nti akawuka akasaasaanya kookolo w’omumwa gwa nabaana aka ‘Human Papilloma Virus’ (HPV) omukyala akafuna okuva ku bba nga beegasse kyokka nga takuuma buyonjo.

Bwe kayingira, katuula ku mumwa gwa nabaana ne kalya, obutoffaali bwako ne buvaamu kookolo. Dr. Emetu annyonnyola nti, obulwadde buno bwe bukukwata n’otobujjanjaba bukosa ebitundu ebivunaanyizibwa ku kuzaala omuli; enseke, amagi, omumwa gwa nabaana, nabaana. Kino kyongera ku mikisa gyo egy’okuvaamu olubuto, obutazaala, embuto okugenda mu nseke, ate bukosa n’omwana ali mu lubuto oba omwana okufiira munda.

Okufiirwa nabaana, okufuna kookolo ow’ebika eby’enjawulo mu bitundu ebyo n’obuzibu obulala. Obugumba obujja oluvannyuma n’okuvaako ebitundu by’omubiri ebirala okukosebwa ng’omutima, ensigo, obwongo.

Mu mbeera eno, olina okutandika obujjanjabi mu bwangu okuziyiza obulabe bunon’obutayongera kubusaasaanya.WEETANGIRE ENDWADDE Dr. Kafeero annyonnyola nti, abakyala basobola okwetangira okufuna kookolo w’omumwa gwa nabaana nga bagemesa abaana abali wakati w’emyaka 9 ne 13. Wabula n’abakulu basobola okwegemesa obulwadde buno ng’olabye omusawo n’akuluηηamya ku ngeri entuufu ey’okukikolamu nga bamaze okukukebera.

Okwewala okwegatta oba okwekuuma. Abaagalana buli omu alina okwekuumira munne. Okukomola abasajja nakyo kikendeeza ku mikisa gy’okukwatibwa n’okusaasaanya endwadde z’ekikaba. Obuyonjo obw’omubiri ne kungulu kikulu. Kozesa kondomu mu mbeera zonna kuba zikendeeza emikisa gy’okusiigibwa obaokusiiga endwadde z’ekikaba.

EBIKA BYA KONDOMU

Musawo Betty Nakirijja, omukugu mu kubudaabuda n’okubunyisa enjiri y’okutangira endwadde z’ekikaba mu ddwaaliro ly’abavubuka erya Nurture Africa agamba nti waliwo ebika by’obupiira bwa mirundi ebiri. Ez’abaami n’ez’abakyala wabula abantu basinga kwettanira za baami kuba ze basinga okumanya ate zibanguyira okukozesa.

Wabula, abaami bakoowa mangu okuzikozesa ne bazivaako ekiyinza okwongera ku mikisa gy’okusaasaanya endwadde z’ekikaba. Kondomu z’abakyala tezettanidwa kuba abasinga tebazimanyi bwe zifaanana wadde okuzikozesa.

ENKOZESA YA KONDOMU Y’ABAKYALA ENNYANGU

1 Manya ennaku z’omwezi akapiira we kaggweerako.

2 Tokozesa mannyo ng’okasumulula. 3 Akapiira kano kalina empeta bbiri; ennene n’entono, ng’ogenda okukakozesa yimirira ku ntebe oba galamira onyige akaweta akatono kakole namba munaana okayingize munda.

Empeta ennene erina kusigala wabweru w’omumwa gw’ebitundu byekyama. 4 Omusajja alina okwegendereza obutaabya kapiira kano. 5 Ng’omalirizza okukakozesa nyoola empeta en nene eri wabweru.

6 Buli mulundi kozesa akapiira kapya. Obukozeseddwa buzze mu kapakitiA

BAKYALA BATYA KONDOMU OKUBABULIRAMU

Abakyala bangi balina endowooza ezitali ntuufu ku kondomu ekibalemesa okuzikozesa.

Okusoomoozebwa okumu kuli na minisitule y'ebyobulamu nga kigyetaagisa kusitukiramu kumanyisa bantu.

OKUSOOMOOZEBWA

Si nnyangu kwambala.

 Zibakaluubiriza okukozesa kubanga bwemuba mugikozesa kikwetaagisa okugikwata ereme kuyingira munda.

 Abakyala balowooza nti empeta erina engeri gy’ekosa nnabaana.

 Abakyala batya babbaabwe okubayita bamalaaya kuba kuba abamu tebaagala kubukozesa.  Minisitule y’ebyobulamu tesomesezza bakyala kimala ku nkozesa yaabwo.

 Kondomu zino tezibunyisiddwa kimala kuba abakyala abasinga tebazimanyi.  Abamu beekwasa Bayibuli nti tebukkiriza.

 Ebbeeyi y’obupiira buno mu malwaliro agamu nnene.

OBUKULU BWA KONDOMU

 Buyamba okuziyiza okufuna embuto z’otetegekedde.

 Kondomu ziziyiza ku mikisa gy’okufuna n’okusaasaanya endwadde z’ekikaba.

 Bw’ozettanira ng’oli lubuto, kiziyiza omwana ali mu lubuto okukwatibwa endwadde. Musawo Nakirijja agamba nti, obupiira tebusobola kwesigika 100 ku 100, wabula bw’oba obukozesezza bulungi bukutangira okufuna endwadde z’ekikaba nga ne siriimu mw’omutwalidde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...