TOP

Obululu butandise okutwalibwa mu bifo awanaalonderwa

By Dickson Kulumba

Added 16th February 2016

Ebikozesebwa byaggyiddwa ku tterekero ly’akakiiko kano e Banda mu ggombolola y’e Nakawa mu Kampala ku ssaawa 12 ez’oku makya g’olunaku lw’eggulo ne bitwalibwa mu kitundu kya West Nile, Moyo, Koboko, Nebbi ne Karamoja.

Bala 703x422

Ying. Kiggundu (akutte bendere) ng’asimbula mmotoka omuli eby’okweyambisa mu kulonda.

AKAKIIKO k’ebyokulonda katandise okutambuza ebikozesebwa mu kulonda ng’ebisoose bigenze mu bifo ebiri mu masoso g’ebyalo.

Ebikozesebwa byaggyiddwa ku tterekero ly’akakiiko kano e Banda mu ggombolola y’e Nakawa mu Kampala ku ssaawa 12 ez’oku makya g’olunaku lw’eggulo ne bitwalibwa mu kitundu kya West Nile, Moyo, Koboko, Nebbi ne Karamoja.

Mu bikozesebwa ebyatwaliddwa kuliko; obukonge bw’obululu, enkalala z’abalonzi, ebyuma ebigenda okweyambisibwa mu kulonda, bwino, ekkalamu, ebbaafu, obubokisi omulonderwa, obuveera, ettaala, obugoye n’obulambe obwambalwa abalondesa, empapula okuwandiikibwa ebivudde mu kalulu, obukozesebwa okubala obululu n’ebitambuza ebibookisi.

Omwogezi w’akakiiko kano, Jotham Taremwa yategeezezza nti okutambuza ebikozesebwa bino kwakoleddwa ku makya okubisobozesa okutuuka amangu ng’olunaku terunnaziba.

Taremwa yagambye nti, “ okutambuza ebikozesebwa kwakoleddwa ku makya nga twagala bituuke ng’olunaku terunnaziba ate (leero) ku Lwokubiri n’ebirala byakutwalibwa mu bitundu by’eggwanga ebirala byonna nga bikolebwa okwetegekera akalulu akagenda okukubibwa ku Lwokuna.”

Bannayuganda baakulonda abakulembeze baabwe ku bifo ky’Obwa-pulezidenti n’ababaka ba Palamenti ku Lwokuna nga February 18, 2016.

Essimu tezikkirizibwa mu bifo omulonderwa - Kiggundu

Mu ngeri y’emu, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Ying. Badru Kiggundu yatangaazizza ku ky’ekiragiro kye yawa nti teri muntu agenda kukkirizibwa walonderwa na ssimu.

Ying. Kiggundu yagambye nti “ Teri muntu agenda kukkirizibwa kukuba bifaananyi munda awalonderwa wabula ebifaananyi byakukubibwa wabweru w’ekifo awalonderwa.”

Bino yabyogeredde mu nsisinkano n’abagoberezi b’okulonda okuva wabweru w’eggwanga ku Hotel Africana mu Kampala nga bano baaweereddwa n’ebiragiro bye balina okugoberera nga bakola omulimu gwabwe.

Ng’abeesimbyewo ku bifo okuli Pulezidenti n’Obubaka bwa Palamenti bakomekkereza enkuhhana zaabwe leero, akakiiko akavunaanyizibwa ku mpuliziganya mu ggwanga kalabudde emikutu gy’empuliziganya egiweereza ebigenda mu maaso mu ggwanga butereevu, okukola kino mu ngeri eteyonoona mirembe mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi