TOP

Muzzanganda alaze bakazi be bataano ku Valentine

By Dickson Kulumba

Added 16th February 2016

Omukolo nga gwakatandika, Kalabaalaba yawadde Muzzanganda omukisa okulaga ensi embiriizi ze era n’atandika “ Waliwo Munnamawulire wano eyansomooza okumulaga bamaama b’abaana be yankuba nabo ekifaananyi kye mwalaba mu mawulire era njagala asembere wano mu maaso alabe bakyala bange ategeere nti nze ndi mukungu wa Kabaka.

Magulu1 703x422

Bakyala ba Muzzanganda nga bamugabula keeki.

OMUGAGGA Wilson Mukiibi Muzzanganda afuludde bagagga banne mu Kampala mu kumanya omukwano bw’akoze akabaga n’abalaga nti musajja mmekete.

Omukolo nga gwakatandika, Kalabaalaba yawadde Muzzanganda omukisa okulaga ensi embiriizi ze era n’atandika “ Waliwo Munnamawulire wano eyansomooza okumulaga bamaama b’abaana be yankuba nabo ekifaananyi kye mwalaba mu mawulire era njagala asembere wano mu maaso alabe bakyala bange ategeere nti nze ndi mukungu wa Kabaka.

“Njagala buli omu yeeyanjule amannya ge n’abaana b’azaala kubanga saagala bagenyi bange bagende nga basigaddemu akakunkuna.”

Nze Nnaalongo Agnes Nabwami amanyiddwa nga Maama Oliver (Najjuma), Mary Babirye,Jane Nakato, Yusufu Katende, Zephaniah Banaleekaki.” Omulala yazzeeko nga ye Jennifer Kyabangi (Maama Joyce); Joyce Nakijoba, Jackie Nankinga. Justine Nanyonga (Maama Ssemwogerere ng’amaka ge gali Naalya) Robert Ssemwogerere, Harriet Mukiibi.

Annet Namatovu ye eyabadde anyumye mu Gomesi y’azaala omwana Ibrahim Kamya era amanyiddwa nga Maama Kamya, abeera Nakifuma. Annet Nababi abeera mu maka amatongole aga Bamuzzanganda e Lukojjo- Mukono.

uzzanganda ngalaga bakazi be basatu wakati baganda ba bakyala be u  kkono ye nnet ababi nnet amatovu ustine anyonga owookusatu ku kkono gnes abwami owookubiri ku ddyo ne ennifer yabangi owookusatu ku ddyo Muzzanganda ng’alaga bakazi be. Abasatu wakati baganda ba bakyala be. Ku kkono ye Annet Nababi, Annet Namatovu, Justine Nanyonga (owookusatu ku kkono). Agnes Nabwami (owookubiri ku ddyo) ne Jennifer Kyabangi, (owookusatu ku ddyo).

 

Ye amanyiddwa nga Maama Sserunjogi; Frank Sserunjogi, Christine Nantongo Nabakiibi, Julius Mutyaba n’abalala. Abakyala abalala nabo beeyanjudde.

Oluvanyuma lw’okweyanjula, Kalabaalaba w’omukolo yagambye nti: “Bannange omusajja Omuganda bw’ati bwe yabeeranga ng’abeera n’emitala ng’oli bw’abuuza nti kitaawo ali wa? Nti ayinza okuba ng’ali Nakifuma, Lukojjo oba Naalya.

Abagagga b’omu kibuga Kampala n’abagenyi abalala bonna baatandise okwekuba obwama wakati mu kwebuuza engeri Muzzanganda gy’atabaalamu.

Omugenyi omukulu ku kabaga kano yabadde Godfrey Kirumira ng’ono olwatuuse okwogera yatenderezza Muzzanganda nga bwamanyi omukwano era aleebezza banne b’abadde yeesiga mu Bagagga b’e Kampala okuli Hajj Mutaasa Kafeero ne Paul Ssembatya Mulundannume.

 bamu ku bagenyi abaabaddewo Abamu ku bagenyi abaabaddewo.

 

Kirumira yagambye nti “ Bulijjo mbadde ntendereza Hajj Mutaasa okubeera n’abakyala bana ne Mulundannume ow’abakyala ababiri naye leero abakulu abo obafuludde nange nga mwontwalidde kubanga olaba nnina kamu bubiri naye buntagaza!

”Wabula Ssentebe w’ekibiina ky’Abagagga b’e Kampala ono yabuuliridde abasajja n’agamba nti “ Bannange ate bw’obeera tolina busobozi teweteeka ku bino kubanga ojja kukaluubirizibwa bwereere obulamu.”

Muzzanganda yakozesezza omukolo guno mu butongole okumalawo enjawukana ze yalina ne Kirumira era ng’omutabaganya omukulu ye Muky. Mabiriizi eyabaddewo n’abeebaza okulaga eky’okulabirako.

Muzzanganda yegattira mu bibiina ebiwerako ng’ekimu ku byo kiyitibwa “Abasseekimu” ng’abakyala b’ekibiina kino bo baanyumidde mu bimyufu, basaze keeki wamu n’okutongoza ekifo awawugirwa mu maka ga Muzzanganda gano agasangibwa e Lukojjo.

Buli mukyala obwedda aliisa bba keeki era ye Muzzanganda yatudde ku ntebe, bakyala be ne bamuliisa wakati mu nduulu okuva mu bantu nti ssebo gwe Landirord w’Abakyala ate abalala nti Kabaka ddala yakulengera okutwala ebbendobendo ly’e Kyaggwe mu ttofaali.

 irumira mu mukyala we uzan Kirumira mu mukyala we Suzan.

 

Muzzanganda yayongedde okucamula omukolo kasita obudde bwatandise okuwungeera n’asaba bamuleetere obumuli bwe n’atandika okugabira buli mukyala akamuli.

Ku mukolo gwegumu yakulisirizzaako abaana be basatu abaafunye diguli nga kwabaddeko Christine Nabakiibi Nantongo eyasomye eby’obulimi okuva e Makerere, John Kaggwa ( By’abakozi okuva ku Bugema Yunivasite) ne Ruth Nabatanzi ng’ono yasomye kubala bitabo okuva e Kyambogo.

Okwebaza Katonda olw’abaana okumaliriza emisomo kwakulembeddwamu Bp. Bukenya era Omumyuka owookusatu owa Katikkiro, Apollo Makubuya, ye yabadde omugenyi omukulu.

Abalamuzi okwabadde Richard Butera, abagagga mu Kampala, abasuubuzi mu Kikuubo n’abalala baabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanawomufulemukwanogwowebuse 220x290

Emize gy’abaana egimu giva ku bazadde...

Ebintu bingi ebikolebwa abaana biva ku bazadde kyokka ensobi ne bazibassaako bokka olwo ne bakuba emiggo ekivaamu...

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....