TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Besigye atadde obukwakkulizo 6 ku kakiiko k'ebyokulonda n'awera: "Nninze kulayizibwa"

Besigye atadde obukwakkulizo 6 ku kakiiko k'ebyokulonda n'awera: "Nninze kulayizibwa"

By Muwanga Kakooza

Added 16th February 2016

Besigye era agambye nti akazito k’atadde ku nkambi ya NRM olw’obuwagizi bw’alina kagireetedde okukankana y’ensonga lwaki poliisi yamutaddeko eryanyi mu Kampala ku Mmande ekyavuddeko n’omu ku bawagizi be okuttibwa abalala ne basigala nga banyiga biwundu mu malwaliro ag'enjawulo.

28111kiiza15703422 703x422

Besigye ng'ayogera

COL. KIIZA BESIGYE aboggodde nti ku luno akalulu akawuuta buva wadde okulonda kweyolese nti  tekugenda kuba kwa mazima na bwenkanya.

Besigye era agambye nti akazito k’atadde ku nkambi ya NRM  olw’obuwagizi bw’alina  kagireetedde okukankana y’ensonga lwaki poliisi yamutaddeko eryanyi mu Kampala ku Mmande ekyavuddeko n’omu ku bawagizi be okuttibwa abalala ne basigala nga banyiga biwundu mu malwaliro ag'enjawulo.

Eyafudde Besigye yagambye nti agenda kumulangirira mu bazira abalwaniridde eggwanga lyabwe.

Kyokka atadde obukwakkulizo mukaaga ku kakiiko k’ebyokulonda ku bintu bye kalina okutereeza nga Febuary 18 terunatuuka ,  okulonda kulyoke kube okw’amazima n’obwenkanya.   

Bino Besigye abyogedde  mu lukung’aana lwa bannamawulire mu makaage e Kasangati enkya ya leero n'ayogera ku bikolwa bya Poliisi bye yayise eby'obutiitiizi nga bakolera Gavumenti eri mu buyinza.

Olukung’ana lwa bannamawulire Besigye alutuukizza oluvannyuma lw'okusooka okusisinkana ab'omukago gwa European Union abali ku kuno okulondoola eby'okulonda abaamusanze mu makaage enkya ya leero.

Yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda amateeka ga Uganda kabafuula baweereza b’abantu sso ssi bakama baabwe nga bbo bwe beetwala n'agamba nti bye kakola biraga nti tekalina mazima na bwenkanya.

Yakasabye okukomya okuba ne kyekubiira  n’awa eky’okulabirako eky’akakulira, Ying. Badru Kiggundu okutegeeza nti singa yalina obuyinza teyandikimukkiriza (Besigye) kwewandiisa kwesimbawo .

"Enjogera ng’eno erina okukoma," Besigye bwe yalabudde.

Yagambye nti yeewuunya Kiggundu okutegeeza nti olukalala lw’abalonzi lulimu abantu nga 20,000 ab’empewo n’agamba nti bagenda kusazibwamu. Kwe kwebuuza oba amannya g’abagenda okusazibwamu ge galiwa ng’ate ku lisiti gye baawa abeesimbyewo gonna kwe gali.

Yasabye akakiiko k’ebyokulonda okukkiriza abantu okugenda n’essimu eziriko kamera baloope ebikolwa by’okubba obululu bye balabye. N’agamba nti Kiggundu talina buyinza kubagaana.

Yagambye nti abatunuulizi b’ebyokulonda n’abakiikiridde abeesimbyewo mu bifo awalonderwa balina okukkirizibwa okutuuka buli we baagala balabe ebitaganda bulungi.

Yayongeddeko nti akakiiko k’ebyokulonda tekasaanidde kulemesa beesimbyewo oba emikutu gy’amawulire okussaawo ebifo ebyabwe we balina okugattira ebiba bivudde mu kulonda mu kifo eky’enjawulo n’agamba nti lino lye limu ku makubo omuyitibwa okukumpanya obululu.

Yasabye abaakwatibwako bave mu by’okweyambisa ebikolo eby’ekijaasi eby’okutabangula okulonda era n’akunga balirwanwa ba Uganda okufaayo ku kulonda okugenda maaso kuba Uganda bw’etatereera n’amawanga ago tegabaamu mirembe.

Besigye agamba nti ebikolwa byonna ebyamukoleddwako Poliisi n'ab'eby'okwerinda ng'agaanibwa okugenda okukuba enkung'aana ze kikolwa kya butiitiizi nti naye era wadde banaamukolangako effujjo si waakudda mabega okulwanirira ky'alina okulwanirira.

Yeerayiridde obutadda mabega n'enteekateeka y'okulaba nga Gavumenti erondebwa mu mirembe esobole okugasa Bannayuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we