TOP

Ssentebe yafudde n'aleka ekiraamo ekikambwe- Temugeza okkaaba nga nfudde

By Lydia mbasege

Added 27th April 2016

Ssentebe yafudde n'aleka ekiraamo ekikambwe- Temugeza okkaaba nga nfudde

Se1 703x422

Abaana n'abazzukulu nga bateeka ekimuli ku mugenzi

MICHEAL Kikomeko abadde ssentebe wa LC 1 ne 2 mu muluka gw’ekyetume mu disituliki Mukono afudde n'aleka etteeka ekkambwe eri abaana be abalenzi okusitula sanduuko ye mayiro nnamba okutuuka kubijja wagenda okuziikibwa ekyalese batabanibe nga batolotooma ssaako n’okwejjusa ekyabaguzisizza sanduuko ezitowa.

 Kibirango muganda w'omugenzi bwe yabadde asoma ekiraamo kino bweyatuuse ku ky’abatabani b’omugenzi okusitula sanduuko y’akitaabwe yakidinganye emirundi egiwera era n'abasaba okuteeka ekyabasabibwa kitaabwe nga mulamu munkola.

 Ekintu ekyawuninkirizza abakungubazi ssaako n'obwama okuyitingana era bangi ne nebamutwala ng'omusajja abadde tazannyirwako  nga ne kyabadde ayogera ku kyalo nga tekiddibwamu.

 Wadde abaana basasudde kkampuni ya A Plus okukola ku by’okuziika kwa kitaabwe era ne bagula ne sanduuko amatiribona nga yonna eriko ebyuma ebitemagana okugyetoloola, abakozi ba kkampuni olwatuuse ekiraamo ne kisomwa ku ssaawa nga musanvu ne bazinga emikono n’okutuunuulira abaana bwe beetikka ssanduuke erimu omulambo gwa kitaabwe.

 Ng’oggyeeko okusitula kitaabwe mu kiraamo yagaany bamulekwa,bannamwadu,ab'oluganda n’abakungubazi okumukaabira era n'abasaba okuubeera abasanyufu ku mbaga ye esembayo.

Yalamidde abaana be okutwala obuvunanyizibwa okugabula abantu abakungubazi bonna emmere era tebageza ne baleka omuntu yenna okugenda enjara kubanga ye abadde muntu wabantu era nga yagala nnyo abantu era abatuuze balidde emmere ne balemere nawo ne bagenda nga bakungiriza omugenzi kyabakoze nga bwebagenda okusubwa omukwano gwe.

 Omugenzi Kikomeko olwamaze okulaama byonna byayagala n'asaba buli muntu yenna gweyasobya,gweyanyiza okumusonyiwa  ssaako naye okusonyiwa abo bonna abaamunyiiza era n'abasaba okumusabira awummule mirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo