TOP

Poliisi ezimbe akaduukulu k’oku Kaleerwe

By Moses Lemisa

Added 28th April 2016

EMBEERA mu kaduukulu ka poliisi y’oku Kaleerwe yeeraliikiriza ng’abamenyi b’amateeka be basibiramu oluusi bawaguza ne batoloka.

Kaduukulu2 703x422

Omusibe ng’alingiza mu kituli ekiri ku kkomera ly’oku Kaleerwe.

 

EMBEERA mu kaduukulu ka poliisi y’oku Kaleerwe yeeraliikiriza ng’abamenyi b’amateeka be basibiramu oluusi bawaguza ne batoloka.

Poliisi eno esangibwa mu Ssebina Zooni mu katale ka Kizito e Kawempe nga yazimbibwa mu mbaawo era abatuuze baagikazaako lya poliisi y’oku ‘kabaawo’.

Abatuuze b’omu kitundu kino bagamba nti abamenyi b’amateeka ab’omutawaana bamenya ekkomera ne badduka nga waliwo abasibe 10, abanoonyezebwa.

Nakyeyune omutuuze mu Kibe Zooni, yategeezezza nti, embeera y’ekkomera yeeraliikiriza abatuuze kuba abamenyi b’amateeka ab’omutawaana olubakwatta batoloka ne baddamu okutigomya abantu.

Yagambye nti enkuba etonnya ennaku zino eyongedde okutiisa abantu kuba abasibe abalimu kaduukulu kyangu okutoloka abaserikale abakuuma ne batawulira.

Yagasseeko nti ekkomera lino ffunda ng’abasibe babeera beenyigiriza ate nga kajjudde n’ebiku. Nakyeyune yagambye nti ekizibu ekirala abaserikale be bassa mu kifo kino batono ddala bw’ogeraageranya n’abantu abali mu kitundu wamu n’obumennyi bw’amateeka bwe beenyigiramu.

N’agamba nti baagala babazimbire ekkomera ery’omulembe kubanga si kyangu kumalawo bumenyi bw’amateeka mu kitundu kino.

“Kayihura lwaki tateesa ne nnannyini ttaka n’abakkiriza waakiri okussaawo konteyina okusinga okuteeka abasibe ab’omutawaana mu mbaawo ze basobola okumenya.

Atwala poliisi y’oku Kaleerwe Isaac Ongum yategeezezza nti ettaka okuli poliisi si lyabwe era tesobola kuzimba nga nnannyini kifo tabakkirizza kyokka n’agamba nti ensonga bajja kuzitunulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...