TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira poliisi e Kawempe alaalise okukwata ababbira mu linnya lye

Akulira poliisi e Kawempe alaalise okukwata ababbira mu linnya lye

By Sarah Zawedde

Added 28th April 2016

AKULIRA poliisi y’e Kawempe, Hashim Kasinga agenze e Bwaise awali akabinja k’ababbi ke balumiriza okukozesa erinnya lye ne katulugunya abantu n’akuba olukuηηaana n’awera okukwata abakalimu kuba boonoona erinnya lye.

Bya SARAH ZAWEDDE NE DEO GANNYANA

AKULIRA poliisi y’e Kawempe, Hashim Kasinga agenze e Bwaise awali akabinja k’ababbi ke balumiriza okukozesa erinnya lye ne katulugunya abantu n’akuba olukuηηaana n’awera okukwata abakalimu kuba boonoona erinnya lye.

Yabadde mu Bokasa Zooni, nga ssentebe wa LC1, Ssaka Wamala Kiryoowa ye yasoose okusisinkana abatuuze abaalumirizza nga bwe waliwo akabinja akabba n’okutulugunya abantu nga bagamba nti Kasinga y’abatuma.

Kiryoowa yakutte akazindaalo n’agamba nti bulijjo babadde balinze Kasinga ajje abannyonnyole ku kabinja akatulugunya abantu kuba bwe babatwala ku poliisi tebabafaako.

“Okubeera mu Bwaise si musango era tekitegeeza nti ekitundu kino kiteekwa kubaamu bayaaye n’abazzi b’emisango.

Abantu abatali bamenyi b’amateeka nabo bateekeddwa okuweebwa obukuumi obumala era njagala poliisi olwaleero etunnyonnyole obuvunaannyizibwa n’obuyinza bwa bayamba ku poliisi okukwasisa amateeka abaalondebwa ku byalo “crime preventer kuba batulugunya abantu”, bwe yategeezezza.

Steven Kaswabuli yaloopedde Kasinga nti enjaga eyitiridde mu kitundu ate baginywa mu lujjudde nga bw’ogezaako okubagambako nga bakuggulako olutalo n’oluusi okukuteega ne bakutuusaako obulabe.

“Twagala Kasinga annyonnyole ku tteeka erifuga enjaga oba ekkirizibwa okunywebwa kyere. Yanokoddeyo ekifo omutendekerwa ebikonde ekya Zebra nti abavubuka abatalina byakukola mwe basooka okubeera ng’ekiro mwe bava ne batulugunya abantu.

Omu ku bannannyini kifo awakubirwa ebikonde Ibra Mayanja yawakanyizza ebyabadde byogerwa ku kifo kyabwe nti kikweka abamenyi b’amateeka n’agamba nti batendeka bakubi ba bikonde nga n’abamu bawangulira eggwanga emisipi.

Akwanaganya poliisi n’omuntu wa bulijjo Conrad Muzoora yagambye nti buli muntu yenna mu kitundu akkirizibwa okuyambako poliisi okukwasisa amateeka.

Wabula tewali akkirizibwa kukola bikwekweto ng’akwata abantu n’okugaba ebibonerezo okuggyako ng’ali n’omuserikale ali mu yunifoomu.

Muzoora yagambye nti abantu abakikola bamenyi b’amateeka era abatuuze tebateekeddwa kusirika wabula okuvaayo ne bagenda ku poliisi.

Kasinga bwe yasituse okwogera, yasoose kwetondera batuuze abatulugunyiziddwa wamu n’okubbibwa akabinja akabadde keefuula nti kalina enkolagana naye. “Bannange sirina nkolagana na babbi era sisobola kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka kubanga nnina kukuuma bantu n’ebyabwe.

Abeefuula abakolagana nange bakikola ku lwabwe era tujja kubakangavvula”, bwe yategeezezza. N’agamba nti ababbi balina obukodyo bungi omuli okwefuula abamanyi abakulira poliisi mu bintundu nga kino bakikola okutiisa ababeera babavunaana.

Yabasabye okutwala emisango gye balowooza nti tegyakolebwako bulungi mu ofi isi ye n’abasuubiza nti ajja kugirondoola ng’akolagana n’abakulembeze baabwe. N’abasaba n’okumubuulira abeenyigidde mu muze guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...