TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Omukozi afuse omusulo mu butunda bwa bboosi we- Camera emukutte ng'asitamye ku jjaaga afuka!

Omukozi afuse omusulo mu butunda bwa bboosi we- Camera emukutte ng'asitamye ku jjaaga afuka!

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2016

Omukozi afuse omusulo mu butunda bwa bboosi we- Camera emukutte ng'asitamye ku jjaaga afuka!

Muk1 703x422

Omukozi kkamera yamukutte ng’ayiwa omusulo gwe mu butunda.

OMUKOZI w’awaka aludde ng’alina obutakkaanya ne mukama we agambibwa nti abadde amutulugunya ekisukkiridde.

Mu butakkaanya obwo, bboosi mwe yafunidde okutya nti omukozi ayinza okukola ekikyamu awaka era n’agula kkamera n’azitega mu nnyumba ne mu kiyungu mwe bafumbira emmere.

Okufaananako ne ku hawusigaalo Jolly Tumuhiirwe eyasottasotta omwana wa mukama we e Ntinda mu Kampala, kkamera zino zaakutte ‘yaaya’ ng’atabula omusulo mu butunda bwa mukama we.

Bboosi yaguddewo ekigwo oluvannyuma lw’okukebera kkamera okulaba ebyakwatiddwa n’alaba omukozi ng’asitama ku ‘jjaaga” (omukebe) mwe yakunkumudde era amangu ago n’ayiwa omusulo ogwo mu butunda obwabadde bumaze okukamulwa.

Amaka galimu abakozi babiri nga bombi bawala era omu ye yakamudde obutunda, kyokka owookubiri eyabadde alina akakuku ku mukama we ye yatabuddemu omusulo.

Ekikolwa kino kyatunuuliddwa ng’ekyokwesasuza era kyatuuse ku mugagga w’e Kuwait eyasazeewo okusaasaanya akatambi ku mikutu gya yintaneti ng’alabula abantu bonna ku bintu eby’obulabe abakozi b’awaka bye bayinza okukola mu maka.

Omukutu gw’amawulire ogwa ‘Daily Mail’ gwategeezezza nti, amannya ga bboosi w’omukozi n’ag’omukozi eyakoze ekitakoleka yasazeewo obutabyasanguza okwewala obulabe obusukka kw’obwo bwe yafunye edda. Akatambi kano kalaga omukozi ng’asooka kulabiriza munne ng’afulumye mu kiyungu, olwo kwe kutabula omusulo mu butunda.

Wadde amannya g’omukozi tegaayasanguziddwa wabula emikutu egimu gyategeezezza nti nzaalwa y’e Somalia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja