TOP

Omukozi yawa omwana wange obutwa ate n’agaana n’okumukwatako

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2016

Omukozi yawa omwana wange obutwa ate n’agaana n’okumukwatako

But1 703x422

ANNET Elizabeth Namiyingo ow’e Matugga naye alojja ebisago ebyamutuusibwako omukozi w’awaka. Omukozi yalunga obutwa mu chipusi ne capati n’abiwa omwana Dodi era Katonda yataasa butaasa.


Namiyingo anyumya nti: Nkozesezza abakozi ab’enjawulo naye buli ajja alina enneeyisa yiye okutuusa kw’ono atuusizza mutabani wange ku migo gy’entaana kati mbannyuse.
Nakomawo okuva e Bulaaya mu 2007 ne ntandika okupangisa e Kansanga ne nfuna omukozi.

Omusajja eyali akuuma ku ggeeti ye yamunfunira ng’ahhambye nti mwannyina era nga basula mu kayumba akali mu kikomera mwe tusula gye yavanga okujja akole.
Nakimanya luvannyuma nti yali aleese mukyala we kyokka ng’engeri gye yeeyisaamu ekutabula.

Omukozi nga yeekolako nnyo n’atuuka ekiseera nga bye mmulagira tabikola.Nalina muganzi wange Omuzungu nga bw’akomawo omukozi ne yeebuga n’adduka okumutikkula ensawo omusajja n’abigaana omukazi n’ampalana.


Twasenguka okudda e Buziga ne nfuna omulenzi ono n’ankolera bulungi. Bwe nazimba e Matugga mu 2013 mwannyinaze n’anfunira omulala okuva e Masaka olwatuuka n’atandikirawo okumpalana bwe yakeeranga okugenda mu katale ng’amalayo essaawa nga bbiri.

Ng’amazeewo akabanga natandika okumwekengera ne tuteeka kkufulu ku nzigi twagendanga okudda ng’azikyusizza ataddeko z’alinako ebisumuluzo.

Bwe naggalawo ebisenge ebimu ng’ayita mu ddirisa n’ayingirayo. Yakwatanga ggiraasi n’agimenya ebikopo n’abimenyako emikonda n’abikweka bwe namunenya n’ategeeza nti ewaabwe si banaku asobola okuddayo n’abeerayo.


Wakati mu mwaka oguwedde nakizuula nga yali afunyeewo omulenzi gw’ayagala mu kitundu nga basiikirawo capati. Olumu yaleetera omwana wange capati ne cipusi omwana olwabiridde n’atabuka n’aggwaamu amaanyi n’atandika okusesema buli kimu ate nga talya.
Yagaana okumukwatako ng’agamba nti ye takwata mu bisesemye ne nzijanjaba omwana wange.

Abasawo baamukuba empiso 25 okufulumya obutwa mu mubiri yenna n’ayubuka. Twalemagana ne mmuteeka mu mmotoka okumuzza ewabwe.


Nafuna omulala okuva e Semuto ono naye n’ankamula, nga takola mirimu ng’ayagala kukeera ayoze ebintu, afumbe alye bwe nnamugamba okulongoosako mu luggya n’ahhamba nti obusente emitwalo omusanvu gye mmuwa ntono nnina okumusasula ez’okulongoosa oluggya.

Yagaana okugenda mu kinaabiro ng’anaabira mu kisenge amazzi ne ganjaala ku ‘tayiro’. Lumu namusanga anaaba ne mmulagira agende mu kinaabiro n’antunuulira n’anaaba n’amaliriza n’akuuta sapatu n’atambula.


Bwe nagulanga ekintu ekipya ng’ahhamba nti maana mmwe mwamala, lumu omwana yazannyisa omupiira ne guddugala bwe namugamba agwozeeko tuguyingize n’ahhamba nti ye takola mirimu mwana gy’aleeta. Oyo naye namugoba kati ngyekolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome