TOP

Baze anzaddemu abaana 7 kati angobera mu kayumba ka mbwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2016

Baze anzaddemu abaana 7 kati angobera mu kayumba ka mbwa

Ba1 703x422

Nnaalongo n’abaana bba baamugamba okutwala mu kayumba k’ebibaawo.

BASAJJA, kkoyi! Omukazi eyakuba ppulaani ne nsomba bbulooka nga mmanyi tuzimba maka gaffe tuwone obupangisa n’okufunira abaana baffe we beebaka awagazi, bwati baze bwe tumaze emyaka omunaana bw’ansasudde kuba afunye mugole!

Kale Mutebi teyandibadde ggwe”, bwatyo Nnaalongo Shamira Nabayemba ow’e Salaama mu Zooni ya Kibira obwedda bw’akaaba nga bba Abdu Rashid Mutebi ne muggya we omugole bamukanyugira ebintu ebweru anoonye gy’alaga.

Nabayemba byonna abinyumya bwati: Baze baamundabira 2008 nga nkyali kijuujulu ddala nga n’emmunye etukula be ttukutuku. Yanneeyitiranga potebo we kyokka laba kati bw’anjolonga, ansindise na mu kayumba ka bibaawo kakirako ak’embwa.

Kati potebo we nfuuse mbwa ye! Jjajja ye yamundabira nange ne nsiima nga mmanyi nfunye omuntu bwe tunaakuumagana. Ne bwe yandifunye omulala saandikifuddeko kuba Kulaani egamba bana naye ate okungobera mu kiyumba ky’embwa n’abaana bange kimpitiriddeko. Nga bamaze okutuwoowa mu muzikiti e Namasuba -Masajja mu 2008, twatandika okubeera ffembi nga baze yeezimba bwezimbi.

 nnyumba mwe bagoba naalongo ku kkono ate ku ddyo kekayumba kebibaawo saalongo ke yatadde awaka Ennyumba mwe bagoba Nnaalongo ku kkono ate ku ddyo k’ekayumba k’ebibaawo Ssaalongo ke yatadde awaka.

 Ebiseera ebyo yali atembeeya ngoye enkadde nga tusula mu kazigo kamu omutali na kitanda era ng’essaala yange eri emu omwami afune ssente tuve mu mbeera embi. Dduwa gye namusabira akole tubeere bulungi Allah yagyanukula bwe yava mu kutembeeyeza ku bigere n’agula pikipiki okw’akolera ssente bwe ziweze ne mmusaba tuzimbe kwe kugula poloti wano e Salaama ne tuzimbamu ennyumba yaffe ya bisenge bisatu.

NFUNA OLUBUTO OLW’OMUKAAGA Omwaka 2014 nga gugenderera nafuna olubuto olwomukaaga naye munnange olwamutegeeza nti ndi lubuto, gwe nali nsuubira okusanyuka yatabuka n’atandika okuyomba buli kadde, omuze gw’ataalina.

Obuzibu bweyongera nga nsumulukuse olwo nga nkubyewo babiri. Eyali annangira okuzaala ng’akamyu yankubirawo bigambo bizito bulala. Yayongera okucankalana n’antegeeza nga ye bw’abadde tayagala nziremu kuzaala kyokka nga tanzikiriza kukozesa nkola za kizaalaggumba!

Nga wayise wiiki nga nnaakazaala nakimanyanti baze afunyeyo omukyala omulala nga n’omukyala yamusisinkaniranga wa mulamu wange. Olwo ekigambo ekitaamuvanga ku mumwa kya kunnangira kuzaala ng’akamyu nga yeerabidde nti tubazaala ffembi.

BAZE ANOBA Ku ntandikwa y’omwaka guno nga tumaze okuyingira enju yaffe eno gy’angobyemu, baze yatandika obutaddanga waka. Ng’oluusi ayingira matumbibudde nga bwe mubuuza anziramu kimu nti ye muntu mukulu tebamubuuza gy’aludde.

 ηηenda okuwulira nga ku poloti yaffe atunzeeko akatundu era zino ssente ze yakozesa okupangisiriza omugole olwo naye n’aviira ddala awaka. Yaddanga lw’ayagadde ng’aleeta obuyambi nabwo obwagenda bwesalako okutuusa lwe bwaggwereddewo ddala. N’abaana abasoma nabatuuzizza nga sirina fi izi kuba nze sikola.

Ye kennyini ye yaηηaana ng’agamba ntuule ndere abaana kyokka kati ate aηηamba nti ye takyalina ssente zitulabirira muviire ηηende ewaffe n’abaana be nzaalira okumu okumu ng’akamyu.

Ebyo byonna nnali mbigumidde ne nsigala nkuze abaana bange nga nfunye n’akalimu k’okufumba obuugi ku ssomero erimu. Wabula ate bwe yalaba nnemeddewo n’atandika okungoba n’ekifuba.

BANKANYUGA EBWERU N’ABAANA Ssaalongo bw’alabye nnemeddeko n’asitula omugole ku Lwokuna ne bajja bankasukire ebintu ebweru. Zaabadde ssaawa 1:00 akawungeezi nga mpa abaana ekyeggulo. Nagenze okuwulira nga baggulawo ennyumba, mpaawo kaaga nga bali ku bintu byange bakanyuga ebweru, kaabuze kata n’emmere y’abaana bagirinyemu.

Nalabye bampitiriddeko kwe kulaya enduulu eyasombodde abatuuze ne banziruukirira nga bantaasa obutanfulumya.

 aata azaala naalongo ku kkoni ngayomba ne saalongo utebi Taata azaala Nnaalongo ku kkoni ng’ayomba ne Ssaalongo Mutebi.

 ABATUUZE BANTAASA Abatuuze olwawulidde enduulu ne basitukiramu era olwatuuse baayombesezza Ssaalongo nga bwe bakomyawo ebintu bye yabadde akanyuze ebweru mu nju. Yabadde awalira ne bamuyisaamu empi era ye omugole yalabye biri bityo ne yeemulula n’adduka.

ANZIMBIRA AKAYUMBA K’EMBWA Okumanya Ssaalongo mujoozi, mu kwagala okunneggyako, yakubyewo akayumba ak’ebibaawo awo ku mabbali g’ennyumba n’aηηamba nti bwemba mpulira saagala kumuviira nsitule ebintu byange n’abaana ηηende mu mbaawo ze yataddewo nti y’enju gy’ampadde kuba ye alina okuleeta omugole we mu nnyumba.

Kale mujoozi! Ennyumba gye nasomera bbulooka agingobamu nsule mu mbaawo ng’embwa oba amanda. Muli andaba nga mbwa?”

SSAALONGO AWERA Ssaalongo Abdu Rashid Mutebi bwe yabadde ku poliisi e Katwe yagambye nti ye yakoowa dda mukyala we nti era yagendako ne mu muzikiti ng’ayagala amuwe talaka baawukane.

Kino baakigaana ne bamugamba nti balina okugabana ebintu, ye Ssaalongo ky’atakkiriziganya nakyo ng’agamba nti y’abadde akola ssente nga Nnaalongo asigala waka kukola gwa kuzaala. “ Nnina eddembe lyange okubeera n’omukazi gwe mpulira nti gwe njagala ku mutima era Nnaalongo namukoowa dda.

Akkirize agende ewaabwe anviire mu nnyumba yange nze mbeere n’omukazi emmeeme yange gw’ejagala. Wabula ebintu byange n’ennyumba sirina kye mmuwaakokuba nze nabikolerera abaana abandekere nja kubalabirira”. KATONO BIBABUGUME Nnaalongo yalabye bimuyinze kwe kukubira kitaawe Muhammad Ssebanyiiga essimu naye n’asitukiramu okujja okwegatta mu lutalo.

 Taata ne mutabani we baawaanyisiganyiza ebisongovu era Mutebi n’amutegeeza nti ye takyayagala muwala we afune abasajja abalala baamugabira.

Ssebanyiiga agamba: Mutebi yawasa muwala waffe ngamuto ddala naye buli kiseeraNnaalongo atukubira essimu nti Mutebi amugobaganya mu nnyumba. Mukoddomi wange yali mwavu kyokka bamaze okukola ku ssente kati yeefuulira munne. Ekyo eddiini y’Obusiraamu tekikkiriza.

Bw’aba ayagala okuwasa awase naye Nnaalongo amuleke mu maka ge ate amulabirire”. KU

POLIISI SSAALONGO GY’ADDDUKIDDE BAMUSIBIDDEYO

Ssaalongo bwe baamulemesezza okugoba Nnaalongo we mu nnyumba n’addukira ku poliisi e Katwe okuloopa taata amuzaalira omukyala ogw’okusaalimbira mu maka ge. Kyokka bwe baabatuuzizza mu nsonga Ssaalongo n’atandika okwewaana nga bwali ssemaka era alina okukola ky’agaaala mu maka.

“Kati kye njagala ye Nnaalongo okunviira mu nnyumba yange nteekemu omukazi gwe mpulira nti gwe njagala”. Kino kyanyiizizza poliiisi ne bamubuulirira naye nga tawuliriza okukkakkana nga bamutadde emabega w’emitayimbwa olw’okulagajjalira famire ye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.