TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • SSAABASUMBA w’Abasoodokisi asabye Gavumenti okussa ssente mu bintu ebiyamba abantu

SSAABASUMBA w’Abasoodokisi asabye Gavumenti okussa ssente mu bintu ebiyamba abantu

By Eria Luyimbazi

Added 1st May 2016

SSAABASUMBA w’Abasoodokisi asabye Gavumenti okussa ssente mu bintu ebiyamba abantu

So1 703x422

Abasodokisi nga bakuza oluna lw'amazuukira

SSAABASUMBA  w’Abasoodokisi Metropolitan Yonah Lwanga asabye bekikwatako okuteeka ssente mu bintu ebiyamba abantu  okusobola okutumbula  embeera zaabwe.

Mu bubaka bwe obw’amazuukira Ssaabasumba Lwanga yagambye nti waliwo ebintu bingi ebigwanidde okukolebwa nga biyamba omuntu wabulijjo  nga okubatusaako amazzi amayonjo, okutumbula eby’obulamu n’ebintu ebirala ebibasoomoza wabula nga tebitunuuliddwamu. “

 Tusaanye okumanya bintu ki ebigwanidde okusokerwako okukola  era bitekebwemu ssente  naye  nga tebifiiriddwako kubiteekamu ssente bisobole okuyamba abantu nga eby’obulamu n'ebintu ebirala

 Yagambye nti abantu betaaga okufuna eddagala  n’okufuna obujanjabi obw’enjawulo nga aba kookolo abali mu kubonaabona olw'ekyuma  ekibakolako okwononeka nga betaaga okuyambibwa mu bunnambiro .

Yavumiridde ababaka ba palamenti  abayisizza etteeka eribaleka okuwa omusolo ku nsako z’ebafuna n'agamba nti beyagaliza bokka kuba ebitongole ebigabirizi by’obuyambi nabyo biwa emisolo  kati bbo lwaki bagwegyeeko.

 mutendesi wa ranes icho naye yeetabye mu kusaba Omutendesi wa Cranes Micho naye yeetabye mu kusaba

 

Yategeezezza nti ababaka mu kifo ky’okuteesa ku nsonga zikwata ku ggwanga bavudde ku mulamwa ne badda ku ky’okwejja omusolo ogwandibadde guyamba abantu abawera.

Ku Lwomukaaga e Kiro Ssabasumba Lwanga yakulembeddemu okusinza  okwamazukira Okusaba kuno kwetabiddwako n’omutendesi wa tiimu ya Uganda The Cranes  Micho Sredejovic eyazze n’abaana be basatu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....