TOP

Lukwago ne Besigye bawakanyizza ekiragiro kya kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Lukwago ne Besigye bawakanyizza ekiragiro kya kkooti

Bes1 703x422

Besigye ne Lukwago bawera: Tetujja kukkiriza kunyigirizibwa.

OMUMYUKA wa Ssaabalabuzi Steven Kavuma, ekiragiro kye yafulumizza ekiyimiriza FDC obutabaako kintu kyonna ky’etegeka mu ngeri y’okuwakanya gavumenti kisaanudde ab’oludda oluvuganya ne bawera nti tebajja kukigoberera.

Ssaabawolereza wa gavumenti, yagenze mu kkooti n’asaba esse envumbo ku bikolwa bya FDC byonna eby’okwekalakaasa okumala omwezi mulamba kubanga bimenya amateeka.

KKOOTI EBAYIMIRIZZA 

Omumyuka wa Ssaabalamuzi, Steven Kavuma yakkiriziganyizza n’okusaba kuno n’alagira nti ebintu ebyassibwawo aba FDC nga okusaba buli Lwakubiri ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi ne mu bifo ebirala biyirimirire mbagirawo.

Aba FDC tebakkirizibwa kutegeka kwekalakaasa kwonna omuli n’okwo okubadde kutegekeddwa okubaawo ku Lwokuna.

Kyokka Besigye yayanukudde n’agamba nti n’omulamuzi Kavuma yennyini ekiragiro kino akimanyi bulungi nti tekijja kukola kubanga kkooti terina buyinza kubaggyako ddembe lyabwe.

 mumyuka wa saabalamuzi teven avuma Omumyuka wa Ssaabalamuzi, Steven Kavuma.

 Besigye yakiggumizza nti akimanyi ye yawangula erabazze bamukola ebintu ebimunyigiriza ng’okumusibira mu maka ge kyokka ku luno tajja kukkiriza amwekiikamu.

LOODI MEEYA AMUWAGIDDE Besigye yeegattiddwaako Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago eyagambye nti ekiragiro kino kitegeeza nti gavumenti eggudde emisango ku bantu baayo era ye nga munnamateeka akimanyi nti bino byonna bifu.

Wabula ssentebe wa Muvumenti mu Lubaga, Abdullah Kitatta, yavuddeyo n’ayogera ku lwa Muvumenti mu Kampala n’alabula nti balina buli kyetaagisa okwahhanga abooludda oluvuganya mu Kampala naddala abo abakoze entegeka z’okulemesa Museveni okulayira.

Yagambye nti bo beewaayo dda okukuuma obuwanguzi bwa Museveni era kino kye kijja okubaggyisaayo amaanyi gonna okulaba ng’omukolo gw’okulayira gutambula mu mirembe. Wabula Kitatta yagambye nti beetegefu okuteesa ne Lukwago n’abantu abalala bwe kigaana, balina obusobozi obukozesa embooko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana