TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Ebyokwonoona obudde bwa Poliisi kati bikomye tewakyali biseera bya kwonoona- Museveni

Ebyokwonoona obudde bwa Poliisi kati bikomye tewakyali biseera bya kwonoona- Museveni

By Ahmed Mukiibi

Added 2nd May 2016

Ebyokwonoona obudde bwa Poliisi kati bikomye tewakyali biseera bya kwonoona- Museveni

Sev1 703x422

Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda ng’alamusa Pulezidenti Museveni. Wakati ye mumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti Gavumenti egenda kukozesa amaanyi n’obumalirivu okukkakkanya n’okugolola ettumba abo bonna abateekateeka okukola effujjo n’okuzannyira mu mirembe gya Bannayuganda.

“ Tetuli baana bato okutuzannyirazannyirako, eby’okwonoona ebiseera bya poliisi bikomye, tugenda kubakolako n’obumalirivu bwonna,’’ Pulezidenti Museveni bwe yagambye.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Duhaga mu disitulikiti y’e Hoima gye yabadde omugenyi omukulu ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’Abakozi olw’ensi yonna.

Museveni yakakasizza Bannayuganda nti tewali muntu yenna alina busobozi kutaataaganya butebenkevu bw’eggwanga n’alabula abalina enteekateeka ey’okwekalakaasa nti amagezi abawa ga bwereere, bagende bakole ebibazimba , bave ku kwonoona biseera byabwe.

TUFUNYE EDDAGALA LY’EBBULA LY’EMIRIMU

Ku mukolo guno, Pulezidenti Museveni yakkirizza nti eggwanga lirimu ebbula ly’emirimu kyokka eddagala ly’ekizibu kino, Gavumenti ya NRM yalifunye.

Museveni yagambye nti essuubi liri mu by’amakolero, ebyobulambuzi, okukulaakulanya ebyobulimi, n’ebyobuweereza bye yagambye nti Gavumenti ya NRM ebitaddeko omulaka ng’eyita mu kuzimba enguudo, okubunyisa amasannyalaze, okussaawo obutebenkevu mu ggwanga n’ebirala. Yawadde eky’okulabirako nti amakolero gokka n’ebyobulambuzi bikozesa Bannayuganda abasoba mu 1,100,000.

Mu kiseera kino, Museveni yagambye nti Uganda erimu amakolero 3,100 nga gakozesa abantu 500,000. Wooteeri ne loogi zonna awamu mu Uganda ziri 3,475 nga zikozesa abantu 600,000.

 ulezidenti useveni ngalamusa ku mulabirizi athan yamanywa Pulezidenti Museveni ng’alamusa ku mulabirizi Nathan Kyamanywa.

 ABAKOZI ABALEMESA ENKULAAKULANA BALABUDDWA

Pulezidenti Museveni yalabudde abakozi ba Gavumenti abalemesa enkulaakulana nga beekiika mu bamusigansimbi nti baakukangavvulwa. “ Mu kisanja ekijja, tetugenda kugumiikiriza abakozi ba Gavumenti abalemesa Bannamakolero ne bamusigansimbi okutandika buzinensi zaabwe,” Museveni bwe yalabudde n’abawa amagezi nti beegobe bokka ku mirimu.

419 BAFUNYE EMIDAALI Abantu 419 baaweereddwa emidaali olw’obuweereza bwabwe obw’enjawulo mu kukulaakulanya eggwanga n’okukolerera emirembe.

Abaafunye emidaala kwabaddeko, boofiisa ba UPDF, Poliisi, Abamakomera, Bannabyanjigiriza, Bannabyabufuzi, abalimi, n’abantu baabulijjo abalala. Abamu ku boofiisa ba Poliisi abaafunye emidaali kuliko: Andrew Kaweesi, Francis Rwengo, Fred Yiga, Fred Kiyaga, Polly Namaye, Good Mwesigwa, Okoth Ogoola, John Ndugtse n’abalala. Abalala abaafunye emidaali ye; Karyarwanda George (eyasomesaako Pulezidenti Museveni mu 1964), Apuuli Kihumuro, Dr. Diana Atwine, Linda Nabusaayi, Sulaiman Tiguragara, Kanyerezi Bwogi, Kasole Bwereere n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...