TOP

Nnalongo afiiriddwa abalongo mu ntiisa

By Deborah Nanfuka

Added 3rd May 2016

Ssaalongo Godfrey Mubiru, taata w’abaana yagambye nti tebamanyi kyayokezza baana kubanga mu nnyumba temwabaddemu muliro nga n’amasannyalaze tegaliiko.

Nalongo1 703x422

Nnaalongo n’abalongo be.

Bya SAUYAH NAMWANJE NE DEBORAH NANFUKA

ABALONGO ab’emyaka esatu n’ekitundu bafudde mu ntiisa, bwe baggyiridde mu nnyumba nnyaabwe mw’abadde abazazise ng’agenze ku dduuka okugula amafuta.

Joan Nsubuga, muliraanwa wa Nnaalongo Betty yategeezezza nti abaana bano Gideon Waswa Kiberu ne Gilbert Kato Kizito nnyabwe yakomyewo nabo awaka e Namasuba mu Para Zooni okuva ku mudaala waatundira amanda ng’obudde butandise okukwata ku Ssande n’abeebasa ye n’agenda ku dduuka okugula amafuta ga sitoovu.

 nnyumba abaana mwe baafiiridde Ennyumba abaana mwe baafiiridde.

 

“Nafulumyeko wabweru ku ssaawa nga 2:00 nagenze okulaba ng’ennyumba ya Nnaalongo eyabadde enzigale evaamu omukka n’omuliro ne gutandika okwaka ne nkuba enduulu abantu ne batandika okuyiira ennyumba amazzi okutaasa abaana,” Nsubuga bwe yannyonnyodde.

Amawulire Nnaalongo gaamusanze mu kkubo n’adduka okujja okutaasa abaana yasanze abantu bakkakkanyizza omuliro nga n’oluggi balumenye n’ayingira butereevu.

Yatuukide ku Waswa n’amuyita n’ayitaba kwe kumuggyayo n’amuteeka wabweru kyokka ye Kato yabadde takyayogera nga ne bulangiti emwokyezza mu maaso. Poliisi yagenze okujja ng’abaana bamaze okubaggyayo n’ebatwala mu ddwaaliro e Mulago gye baafiiridde ku Mmande nga bukya.

Ssaalongo Godfrey Mubiru, taata w’abaana yagambye nti tebamanyi kyayokezza baana kubanga mu nnyumba temwabaddemu muliro nga n’amasannyalaze tegaliiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...

Ssenga1 220x290

Lwaki malamu mangu akagoba?

Ndi musajja wa myaka 40. Nnina ekizibu eky’okumala amangu nga ndi n’omwagalwa wange.

Suna 220x290

Omwenge gwawasa baze n’ansuulawo...

NZE Sarah Birungi 27. Mu 2011 nafuna omusajja Patrick 32 n’ankwana, olw’obugambo bwe yambuulira obwantengula omutima...