TOP

Kayihura yeekwatidde mu muyiggo gwa Bakifeesi

By Eria Luyimbazi

Added 4th May 2016

Yagenze ne mu bitundu ebirala awagambibwa nti ba Kifeeesi gye basibuka omwabaddemu Katwe Kinyoro mu Kitooro ne ku kkanisa ya Agape awaasangiddwa abavubuka abaabadde beebase emisana ne bakwatibwa. Abaliraanye ekkanisa eno bano baabalumiriza okuba ku babatigomya.

Kifeesib1 703x422

Kayihura ng’aliko gw’asoya ebibuuzo mu bitundu by’e Katwe


OMUDUUMUZI wa poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura avudde mu ofiisi n’agenda mu bifo omugambibwa okwekwekamu abavubuka abaakazibwako erya Kifeesi.

Kayihura ku Olwokubiri lwonna yaluwaddeyo n’ava mu ofiisi ng’agamba nti akooye okuwulira nti abavubuka abo abagambibwa okuteega abantu ne bababba balemeddwa okukwatibwa.

Ekikwekweto kino Kayihura yakitandikidde ku Conrad Plaza ku Ntebe Road nadda Nkurumah nagenda ku luguudo lw’eggaali y’omukka gye yakwatidde abavubuka babiri nga bano olwalabye aba poliisi ne bagezaako okudduka okuyingira omwala gw’e Nakivubo.

Yagenze ne mu bitundu ebirala awagambibwa nti ba Kifeeesi gye basibuka omwabaddemu Katwe Kinyoro mu Kitooro ne ku kkanisa ya Agape awaasangiddwa abavubuka abaabadde beebase emisana ne bakwatibwa. Abaliraanye ekkanisa eno bano baabalumiriza okuba ku babatigomya.

Yeeyongeddeyo mu bitundu by’e Nsambya ng’abatuuze bamulaga obufo obw’obulabe okwabadde oluguudo oluva ku Sharing e Nsambya, ku limbo ne Ave Maria era nalagira ebitundu ebimu okusibwamu poliisi n’okwongera mu kulawuna.

Ebifo ebirala bye yalambudde kwabaddeko Nabisaalu, Nkere, Nsambya Gogonya n’awalala.

Abavubuka abasoba mu 15 be baakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi eya CPS, Nsambya Gogonya ne Katwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Anyiize n’ayiira bba olweje

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe...

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.