TOP

Baleese obujulizi bwa katambi mu gwa Kasiwukira

By Alice Namutebi

Added 4th May 2016

Omujulizi omulala Richard Byamukama ng’akolera mu kitongole kya Joint Anti Terrorism yagambye nti, Jaden (avunaanibwa) mukwano gwe era yali amuyingizizza mu diiru y’okutta Kasiwukira oluvannyuma lw’okwegeza mu Kasiwukira enfunda ssatu okumukuba amasasi n’alemererwa.

Nabikolo1 703x422

Sarah Nabikolo (ku kkono) ne Sandra Nakungu nga bali mu kkooti.

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUSANGO gw’okutta omugagga Kasiwukira gwazzeemu okuwulirwa mu kkooti Enkulu eggulo, mu maaso g’omulamuzi Wilson Musalu Musene.

Oludda oluwaabi lwaleese abajulizi bana, ng’omuwendo gw’abajulizi abaakalumiriza nnamwandu Sarah Nabikolo, muganda we Sandra Nakungu n’owa poliisi Ashira Jaden nti be batta omugagga Eria Ssebunya Bugembe Kasiwukira baaweze 20.

Abajulizi kwabaddeko owa poliisi, Richard Ogwal eyategeezezza kkooti nti yamanya ku lukwe lw’okutta Kasiwukira ne Florence Rugadya Bonabaana omukozi wa UBC TV nga ye yali mukama wa Badru Lutaaya Ssemwanga eyawuliriza akatambi.

Omujulizi owookuna ye Richard Byamukama nga ye yakwatta akatambi.

Ssemwanga 57, yategeezezza nti amaze emyaka 23 ng’asoma amawulire ng’akatambi okwali amaloboozi mukama we Florence Rugadya ye yakamuwa n’akawuliriza.

N’agamba nti amaloboozi agaliko ga basajja babiri naye nga tebaatula mannya gaabwe. Omuwaabi wa Gavumenti, Alice Kyomuhangi, yamubuuzizza ategeeze Kkooti biki bye baali boogera.

Ssemwanga yagambye nti “Amaloboozi gaali tegavaayo bulungi naye nasobola okuwuliriza ebyo ebyali bisoboka.

Abasajja bano baali boogera ku bintu bingi omwali ssente obukadde 30 ze bali bagenda okukolera omulimu, baayogera ne ku mukazi ali mu bbanka ya DFCU eyali alinda ceeke gye baali bataddeyo nga tennaatuusa kiseera kya kuggyayo ssente.

Baayogera ku muvubuka eyali afulumidde mu Bukedde gwe baali bakutte, munne n’amugumya nti si ye.

Bwenagenda mu maaso nga mpuliriza akatambi, abasajja baayogera ku byokoola bye baayita mayembe agaali mu kisenge ekimu mu nnyumba ekyali kitaggulwa.

Baayogera ku kasolya k’ennyumba akaakwata omuliro ogutamanyiddwa gye gwava ne baleeta omusumba Kakande n’abasabira.

Waliwo we baatuuka ne boogera ku byokoola ebiri mu nnyumba nga bagamba nti oluusi balaba abantu abambadde engoye enjeru nga bakuba engoma enganda era nti omukyala gw’ataayatudde mannya yagaana okutuukiriza endagaano y’okusaddaaka omwana gwe baamusaba.

Omusajja ayogerera mu katambi yategeeza munne nti madam yakkiriza okugenda e Buyindi abuuke eddagala.

Ssemwanga yagambye nti, teyasobola kutegeera muntu gwe baali boogerako kuba eddoboozi teryaliddungi nga buli lw’atuuka ku linnya awulirako ennukuta”KA” era nakikkaatiriza nti mu mboozi eno temwalimu ddoboozi lya mukyala yadde okwogera erinnya ly’omukyala lyonna okugyako okugamba nti madam.

Omujulizi omulala Richard Byamukama ng’akolera mu kitongole kya Joint Anti Terrorism yagambye nti, Jaden (avunaanibwa) mukwano gwe era yali amuyingizizza mu diiru y’okutta Kasiwukira oluvannyuma lw’okwegeza mu Kasiwukira enfunda ssatu okumukuba amasasi n’alemererwa.

Byamukama yagambye nti “ yasisinkana ne Jaden mu 2014 n’amutegeeza nti alina ddiiru y’okutta omuntu ng’efuna ekiralu.

Twasisinkana Sandra eyali atudde mu mmotoka ye naye nga feesi agikweka.

Yambuuza ssente ze naakolera omulimu ne mutegeeza nti obukadde 50, naye n’agamba nti agenda kusooka kwebuuza era ne tukomekkereza ku bukadde 30.

Nagenda ne ntegeeza ku bakama bange wabula tuba tetunnaba kufuna bujulizi ne nfuna amawulire nti Kasiwukira bamusse ne tufuna engeri y’okukkwata Jaden ku katambi kuba twali tumusuubira nti ali mu lukwe naye nga tetulina bujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine1 220x290

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi...

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi ba Bobi Wine e Wampeewo, Luteete - Magere

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...