TOP

Ebya Sejusa biwanvuye

By Alice Namutebi

Added 4th May 2016

Ebya Sejusa biwanvuye

Sej1 703x422

AKULIRA eby’amateeka mu magye Brig. Ramathan Kyamulesire agambye nti Gen. David Sejusa tannatuusa myaka gyakuwummula  yensonga lwaki amagye gakyagaanye okuteeka mu nkola okusaba kwe.

Kymulesire bino abitegeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Margret Oguli bwabadde amubuuza emyaka abajaasi kwebalina okuwummulira.

Kyamulesire agambye nti okusinziira ku mateeka agafuga abamagye, omujaasi ali ku daala lya General asobola okukkirizibwa okuwumula obujaasi singa aba awezezza emyaka 65 kyokka nga yadde Sejusa asaba okummula akyali ku myaka 62.

Nga December 30 2014 Sejusa yasaba okuwummula amagye era nga mu mateeka okusaba kwe kwalina okuddibwamu mu nnaku 90 ezaggwako  nga April 8 2015.

Sejusa agamba nti embeera gyebamuyisaamu omuli okumuggyako emundu, abakuumi, yunifoomu y’amagye ssaako n’obutamuwa musaala biraga nti takyabalibwa nga mujaasi .

Omulamuzi Oguli alagidde Kyamulesire anyonnyole kkooti lwaki Sejusa takyafuna musaala kwekumugamba nti Sejusa yagaana okubawa akawunti kwebaba bamuteera ssente ze era nga kino kyekikyabasibye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako...

Entalo 10 Sheikh Muzaata z'azze alwana

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...