TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Museveni agabudde kabineti ye ekijjulo n'ababuulira Gavumenti ye byetuseeko mu myaka 30

Museveni agabudde kabineti ye ekijjulo n'ababuulira Gavumenti ye byetuseeko mu myaka 30

By Ahmed Mukiibi

Added 4th May 2016

Museveni agabudde kabineti ye ekijjulo n'ababuulira Gavumenti ye byetuseeko mu myaka 30

Sev1 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogera eri Baminisita

ULEZIDENTI Museveni atuuzizza olukiiko lwa Kabinenti olusembeyo mu kisanja kye ekyokuna  ekiggwaako ku Lwokuna olujja nga May 12m lw’agenda okulayizibwa  okutandika ekisanja ekyokutaano.

Olutuula lwa Kabinenti luno olutudde mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe, bwe luwedde ku ssaawa ez'amalya g'ekyemisana, Pulezidenti agabudde Baminisita be ekijjulo makeke , kwe yasinzidde  okwogera ku bituukiddwako mu kisanja kino.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g’Obwapulezidenti olwaleero, Museveni asiimye  Kabinenti ye nti yabuzeeko katono okutuusa Uganda  ku mutendera ogw’enkulaakulana oguyitibwa “Middle Income” (eggwanga lwe libeera ng’abantu abasinga obungi nga bali bulungi mu byenfuna ate ng’omuwendo   gw’abaavu guli wansi nnyo).

Pulezidenti ayogedde ebimu ku bituukiddwa mu myaka 30 egy’obukulembeze bwe  n’annyonnyola nti mu 1986 NRM lwe yajja mu buyinza, Uganda yali etubidde mu bizibu bingi kyokka ebisinga kati bikoleddwako.

Agambye nti ekisanja ekijja  kigenda kubeera kyangu kubanga NRM egenda kubeera ng’ettaanya buttaanya n’awa ebyokulabirako nti  enguudo zikoleddwa, amasannyalaze kati gabunyiziddwa, eggwanga litebenkedde bulungi. " omwaka 2019 we gunaatuukira, Bannayuganda bajja kuba batandise okulya ku ssente ez’amafuta kubanga ekyokuzimba omudumu okutambuza amafuta bikoleddwako.

Omumyuka wa Pulezidenti Edward Sekandi yeebizza Pulezidenti  olw’ekijjulo ky'abagabudde wamu n’okubalung'aamya mu nsonga ezitali zimu ate Katikkiro Rugunda  agambye nti wadde wabaddewo okusomoozebwa, Kabinenti ebadde bumu mu nsonga zonna.

 OBUNKENKE Wadde Baminisita , Pulezidenti abagabudde ekijjulo, abamu baakiridde emitima gibali mu mitwe olw’okutya nti bandisuulibwa  mu kabinenti eddako.

Baminisita kumpi 30 tebagenda kudda mu Palamenti Eyekkumi oluvannyuma lw’abasinga okuwangulwa mu kulonda kw’ababaka ba Palamenti    ate abalala tebeesimbyewo  nga bagamba nti bannyuse eby’obufuzi oby’okuvuganya.

Pulezidenti Museveni waakulayizibwa ku Lwokuna nga May 12, 2016 ku mukolo ogw’Ebyafaayo ogutegekeddwa e Kololo nga gavumenti  eyise abakulembeze  b’amawanga 50 okugwetabako. Bw’abaana tannalayizibwa, olukiiko lwa Baminisita lusuubirwa okusattululwa olwo, Abawandiisi ab’enkalakkalira bakole nga baminisita olutuusa Museveni lw’anaalangira Baminisita abapya.

Kabinenti empya , Pulezidenti waakugirangira oluvannyuma lw’okulayizibwa kw’ababaka baPalamenti nga May16, 17 ne 18, 2016 n’okulondebwa kwa Sipiika n’omumyuka we nga May 19, 2016.

Pulezidenti ajja kusooka kulonda Mumyuka wa Pulezidenti akakasibwe palamenti yonna wamu n’oluvannyuma alonde Katikkiro naye akakasibwe palamenti yonna ate bo Baminisita abapya baakukakasibwa akakiiko ka Palamenti akakasa abalondebwa Pulezidenti.

Palamenti bwenaamala okukalayizibwa   n’okukakasa baminisita, omulimu omukulu gw’ejja okusooka okukola gwa kwanjulirwa bajeti y’eggwanga , ejja okusomwa Minisita w’Ebyensimbi mu Wiiki ey’okubiri eya June 2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...