TOP

Abayimbi balumbye Salim Saleh naye abatebuse

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2016

Abayimbi balumbye Salim Saleh naye abatebuse

Ra1 703x422

Ragga Dee

ABAYIMBI ne bannakatemba baamaze essaawa mwenda nga balinda Gen. Salim Saleh akole ku bizibu byabwe wabula abamu baavuddeyo omumwa guli mu nnyindo nga bye baabadde basuubira bigaanye okuyitamu.

Baasoose kukubagana mpawa mu maaso ga Gen. Saleh gwe baasisinkanye ku Lwokuna okumusaba ssente z’okutumbula omulimu gwabwe. Obutakkaanya bwavudde ku muwendo gwa ssente ogw’obuwumbi obusatu Benon Kibuuka, akulira ekibiina ekigatta bannakatemba n’abayimbi (Uganda Performing Artists) gwe yasabye Saleh abawe.

Abayimbi abamu baabadde bawakanya omuwendo ogwo nga bagamba nti mutono nnyo ate abalala nga bagamba nti ebintu ssente ezo bye zinaakola byabadde tebirambuluddwa bulungi.

Kibuuka yalemeddeko era omuwendo ogwo n’agwanjulira Gen. Saleh mu lukiiko olwabadde ku Serene Suites e Mutundwe mu Kampala. Gen. Saleh yababuuzizza kye baagala okukozesa ssente ezo, Kibuuka n’atandika okutamattama.

 aleh akutte akazindaalo ngasisinkanye abayimbi ne bannakatemba Saleh (akutte akazindaalo) ng’asisinkanye abayimbi ne bannakatemba.

 Yasoose kuttottola bizibu bye bayitamu omuli obwavu nga n’olumu babulwa n’ensimbi z’entambula ne fiizi z’abaana. Kuno yagasseeko Bbanka obutayagala kubawola ssente nga babalaba ng’abaavu, n’awunzika ng’agamba nti bakooye n’okukolera mu bisaawe by’emipiira nga baagala kuzimba ekifo eky’omulembe we banaakoleranga ebivvulu.

Kibuuka yajjukizza Saleh nti: Ssebo Genero, ffe b’olaba tulina eddoboozi era bwe tusalawo okukyusa abantu tukisobola era ne bwe kuba kukyusa gavumenti obusobozi obwo tubulina; n’olwekyo gavumenti erina okutukwata obulungi n’okutulowoozaako mu ngeri ey’enjawulo.

Yanokoddeyo n’amateeka agabanyiga naddala eriziyiza okuleekaanya emizindaalo kw’ossa emisolo n’empooza naddala ku kutimba ebipande mu kibuga. Ebyo byonna obwedda abyogera nga Gen. Saleh asiriikiridde amwegese amaaso era Kibuuka bwe yamalirizza okwogera, Saleh n’addamu okubuuza nti: Bwe tugendera ku kibalo, obuwumbi obusatu ze mwagala bwe nzibawa mugenda kuzitemaatema mutya?

Ekirala, ssente ezo bwe muzifuna, mutegeka kuzizza mutya? Awo Kibuuka yayanukudde mangu nti: Ssebo mu myaka esatu oba ena, tuba tuzizzizza zonna. Eby’entemaatema mukama wange byangu, bwe tuzimba ekifo awakolerwa ebivvulu tujja kussaako amaduuka tusolooze ez’obupangisa nga bwe tusasula.

Awo Gen. Saleh we yamutegeerezza nti: Ekifo ky’oyogerako okuzimba mpulira ng’ekitasoboka kukolebwa ku buwumbi obusatu; okuggyako nga mwazze kusaba ssente za kulyako buli! Kibuuka obwedda buli lw’atamattama ng’ekibinja ky’abayimbi ne bannakatemba abaabadde basukka mu 200 abaabaddeyo, nga beesooza.

 atia uyima ne mukyala we auda atenda Matia Luyima ne mukyala we Sauda Batenda.

 BEERANGIDDE MU MAASO GA GEN. SALEH Abamu ku baabaddeyo kuliko Geoffrey Lutaaya owa De Nu Eagles, Catherine Kusasira, Dr. Hilderman ne Musa Kavuma aba Golden Production Band; kw’ossa Fred Ssebbaale, Dr. Tee (Travis Kazibwe) Ragga Dee (Dan Kazibwe), Amelia Nambala, Emperor Orlando, Mamuli Katumba, Ashraf Ssemwogerere, abategesi b’ebivvulu n’abayimbi abalala naddala abato. Sophie Gombya ne bba Sam Gombya nabo baabaddeyo. Ragga Dee bwe yalabye Kibuuka alemeddwa okumatiza Saleh, kwe kukwata akazindaalo n’agamba nti:

Mwami Kibuuka weetoolodde nnyo n’otatuuka ku nsonga. Tetwagala otutambuze ng’abayimbi ba “Tubonga Naawe” be nnalukira ddiiru kyokka abasajja ne bampita emabega ne bandyako ssente ate nga twali tuluse ddiiru nga buli muyimbi alina okulya ku ssente za Muzeeyi (Pulezidenti Museveni).

Gen. Saleh yawulirizza n’abayimbi abalala bakira abattottola ebizibu byabwe ssekinnoomu: Ssebbaale eyayimbira ku nkuh− haana za Dr. Kizza Besigye mu kampeyini eziwedde yasinzidde mu lukiiko olwo n’agamba nti yawubisibwa naye takyaddamu kuyimbira bavuganya gavumenti nti era yayiiyizzaayo olulala olukubiriza abantu obuteekalakaasa ate Mamuli Katumba n’asaba ssente z’obujjanjabi. Gen. Saleh yalabise ng’atabuddwa olw’engeri abayimbi gye baabadde battottola ebizibu wabula nga balabika ng’abataasoose kwetegeka era n’awunzika nga bonna abawadde amagezi basooke beegatte bakole SACCO baddemu okumusisinkana nga balina ‘pulaani’ ennambulukufu

 aleh ne muwala we isha Saleh ne muwala we Aisha.

Yabagambye nti gavumenti esobola n’okubawa obuwumbi 30 bwe baba balaze okweteekateeka okulungi n’obumu. Yabasiibudde era Tonny Ssempijja omutegesi w’ebivvulu kwe kubagamba basimbe layini abaddize ssente z’entambula; olwo buli omu n’amuwa emitwalo ebiri (20,000/=).

Abayimbi b’amannya, ssente ezo tebaazitutte era zaatwaliddwa abayimbi abato. Baatuuseewo ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ku Lwokuna ne balinda okutuuka ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi olukiiko we lwatandikidde ne luggwa ku ssaawa 5:00 ez’ekiro. Wabula mu kwabuka, abamu baalumbye Kibuuka olw’okuwaayo ebirowoozo ebibye ng’omuntu, mu kifo ky’okugendera ku biba bikkaanyiziddwaako mu nkiiko.

Saleh yabadde n’abamu ku bantu okuli Herbert Ndiwalana, Robert Ndyomugenyi , Abraham Sagala, Maj. Mohammed Kiggundu (Bba wa Maama Fiina), Dr. Kihura Nkuba era bonna baasoose kwogera n’abayimbi ne babawa amagezi ku bintu bye balina okussaako essira nga basisinkanye Saleh wabula beewuunyizza nga balaba abayimbi ne bannakatemba buli omu ayogera kikye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...