OMUSAJJA atawena asse omusota oluvannyuma n'agwesiba mu bulago n'aleka abantu nga bamwewuunya obumalirivu bwalina.
Omusajja ono amanyiddwako erya Kato anyonyodde nti ekimussizza omusota n'agussa ku mugongo kwekulaga abantu abantu ye tazannyisa kintu kikosa bulamu bw'abantu era buli lw'atambula nagwo abantu ne bamudduka kimwogera amaanyi n'okwongera okukakasa nti si musajja mwangu n'akatono.
Abasirikale ababadde okumpi baze mangu ne bamugoba nga bamugamba nti tasaanidde kwesiba misota mu bulago era wano weyabategeerezza nti asobola okukwata emisota egyekika kyonna nti kubanga ye ng’omuntu siyaabikola wabula alina amaanyi ga bajajja agamulinnya nalyokka anoonya emisota mu bitundu wonna wabeera agiwulidde nalyokka agikwata.
Wabula abantu bamuwakanyiza bwebamubuuziza lwaki ne milamu tagyesiba nasalawo okwesiba egifudde, yalabye abantu bayitirizza okumusoya ebibuuzo kwekutambula nabaviira. Byabadde Bukujja mu Buikwe district.
Ono omusajja obumalirivu bwalina bwa mpologoma . olwamaze okutta omusota nasalawo okugwesiba mu bulago natambula nagwo. Obwedda bantu bamulaba bamwewunya omumalirivu bweyabadde akozeseza, era bakazi bangi balabiddwako nga badduka okumuvira nga bagamba nti tebalina mukwano nisota . Wabula omusajja ono oluvannyuma eyategeerekeseko elya Kato olwabuziddwa lwaki amala okutta emisota nagyesiba yategeezeza nga bwagyambala okulaga abantu nti tasagisa kintu kyabulabe ku bulamu bwomuntu. Yagasseko nti bwatambula nagyo abantu ne bamulaba bamwongera maanyi bwebamudduka era nagamba nti bwasanga baana bato babulira obulabe bwe misota era wano weyatandikidde okuguzanyisa nga bweyewana okubeera nti ye wanjawulo okusinga ku bantu balala. Abasirikale babadde okumpi baze mangu ne bamugoba nga bamugamba nti tasanidde kwesiba misota mu bulago era wano weyabategerezza nti asobola okukwata emisota egyekika kyonna nti kubanga ye ng’omuntu siyabikola wabula alina amaanyi ga bajajja agamulinnya nalyokka anoonya emisota mu bitundu wonna wabeera agiwulidde nalyokka agikwata. Wabula abantu bamuwakanyiza bwebamubuuziza lwaki ne milamu tagyesiba nasalawo okwesiba egifudde, yalabye abantu bayitirizza okumusoya ebibuuzo kwekutambula nabaviira. Byabadde Bukujja mu Buikwe district.