TOP

Ebya Peter Ssematimba bibi

By Alice Namutebi

Added 7th May 2016

Ebya Peter Ssematimba bibi

Sem1 703x422

KKOOTI eyise akulira akakiiko ka National Council for Higher Education [ NCHE]  anyonnyole ku mpapula z’obuyigirize eza Peter Ssematimba.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe yalagidde John Asibo Apuda okweyanjula mu kkooti nga May 11 2016 oluvannyuma lwa munna DP Stephen bwebaavuganya mu kalulu ka Busiro South okumutwala mu kkooti.

Ssekigozi agamba nti munna NRM Ssematimba talina buyigirize bumala bumusobozesa kwesimbawo ku kifo ky’omubaka wa palamenti nga wano wayagalira Asibo anyonnyole kkooti kwebasinziira okuwa Ssematimba ebbaluwa gyeyatwala mu kakiiko k’ebyokulonda okusunsulwa

Ssekigozi agamba nti Ssematimba yakoma mu S.4 n'agendaa ebulaaya okutandika obulamu obupya  kyokka nga omuntu okwesimbawo oteekwa okuba n’ebbaluwa ya S.6[ UACE] oba egyenkana.

Kyokka ye Ssematimba agamba nti bweyagenda e bulaya yaddayo okusoma n'afuna satifiketi nga eno akakiiko ka NCHE gye baagerageranya nga  yenkana ne bbaluwa ya S.6 mu Uganda olwo nakkirizibwa okwesimbawo ekintu Ssekigozi kyawakkanya nti ebbaluwa zino ngingirire.

Ssekigozi era agamba nti Ssematimba yabba obululu ssaako n’okwetaba mu mivuyo egyenjawulo mu kulonda nga kati ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA