TOP

Titie bamusibye ‘nkusibidde awo’ Katongole n’awunga

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Titie bamusibye ‘nkusibidde awo’ Katongole n’awunga

Ti1 703x422

Titie ng’alaga abawagizi be Sserunjogi .

OMUYIMBI Titie Tendo Tabel atulise n’akaaba bwagasimbaganye n’abasajja be bombi okuli Katongole Omutongole ne Deo Sserunjogi. Sserunjogi okukakasa nti kati y’ali mu kintu (ye musajja wa Titie) yamunaanise empeta ya nkusibidde awo ku siteegi mu maaso ga maama wa Titie enduulu n’evuga okuva mu bantu.

 itie ne atongole ku siteegi Titie ne Katongole ku siteegi.
Kino Sserunjogi yakikoze amangu ddala nga Titie yaakamala okuyimba ne Katongole, abantu ne bakuba Katongole olube nti, “lwaki teweesonyiwa mukazi,” kyokka Katongole n’abaddamu nti, “okutuusa nga tugattuluddwa mu butongole nze, Titie nkyamutwala nga mukyala wange oyo Sserunjogi amwesibako bwesibi...” Bino byabadde ku Theater Labonita ku Lwokutaano ekiro, Titie bwe yabadde atongoza oluyimba lwe ‘Tebyansala’ olwawandiikibwa omuyimbi Chris Evans.

Titie ne Katongole baasoose kuyimba bombi ku siteegi ennyimba omuli ez’omukwano n’endala obwedda mwe beekoonera n’okwerangira. Ng’anaatera okumaliriza, yasuddemu oluyimba lwa ‘Tebyansala’ wano, Sserunjogi eyabadde atudde waggulu mu VIP n’akkirira amadaala n’amwegattako ku siteegi.

 nyina wa itie ngamugudde mu kifuba Nnyina wa Titie ng’amugudde mu kifuba.

 Yasoose kusikayo ssente n’atandika okumufuuwa enkola y’Ekinaigeria ekyaddiridde kwe kusikayo empeta mu nsawo y’empale. Wano yafukamidde n’agimwambaza olwo enduulu n’evuga era olw’essanyu, Titie yatulise n’akaaba.

Amangu ago, nnyina eyabadde atudde mu bantu yadduse n’alinnya ku siteegi n’amugwa mu kifuba mu ngeri emusanyukirako olw’okufuna empeta.

Bino byonna obwedda bigenda mu maaso nga Katongole ali ku bbali azimbye omutima. Sserunjogi olwabuuziddwa oba kye yakoze akikakasa (okuwa Titie empeta) yazzeemu kimu nti, “ebigambo byange bitono mutunuulire bikolwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.