TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Owa ‘Zubair Family’ bamusibidde mu kkomera ly’abatujju- Mukazi we atwalidde Kayihura Abaana

Owa ‘Zubair Family’ bamusibidde mu kkomera ly’abatujju- Mukazi we atwalidde Kayihura Abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Owa ‘Zubair Family’ bamusibidde mu kkomera ly’abatujju- Mukazi we atwalidde Kayihura Abaana

Zab1 703x422

Nakibinge eyakwatiddwa

AMAZE ennaku nnya nga tamanyiddwaako mayitire. Ku Lwokutaano lwe baazudde nti Omulangira Joe Nakibinge, azannyira mu ‘Zubair Family’ ku Ttivvi nti ali mu kkomera e Nalufenya, gye basibira abatujju!

Mukyala we, Maria Bankiiya yasitudde abaana n’abamu ku booluganda lw’omusajja ne bagenda ku poliisi e Naggulu. Eno gye baakamutemedde nti bba ali mu kkomera n’ayoza ku mmunye nga bw’alaajana nti, “kale bw’aba ng’alina omusango mutubuulire oba mumutwale mu kkooti avunaanibwe naye si kumuteeka Nalufenya...!

” Nakibinge omutuuze w’e Kakindu, Kawuku ku luguudo lw’e Ntebe muzannyi wa Binnayuganda mu kibiina kya Zubair ekizannya. Azannya Ekirungo ky’omukwano ogulagibwa ku Bukedde TV1 ate mu ‘Zubair’ yazannya nga looya wa famire).

OMUKYALA ASITUDDE ABAANA N’ABATWALIRA KAYIHURA

Oluvannyuma lw’ennaku nnya ng’omuntu waabwe tebamulaba yadde okumuwuliza, ku Lwokutaano mukyala wa Nakibinge (Bankiiya) yasitudde abamu ku baana be n’abatwala ew’omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura ng’agamba talina ky’abaliisa ate nga nabo bamubuuza ‘ddadi yalaga wa?

’Bankiiya eyabadde ne Derrick Mutema, akola ne Nakibinge mu kkampuni ya Winsor Consultancy Firm e Lubaga ssaako nnyina wa Nakibinge, Eve Kalembe, e Naggulu ku kitebe kya poliisi Kayihura tebaamusanzeeyo kyokka waliwo omu ku bayambi be eyabayambye okuzuula omuntu waabwe gy’ali.

OKULABA NAKIBINGE OSOOKA KUFUNA BBALUWA

Omumyuka wa Kayihura yabategeezezza nti okulaba omuntu waabwe e Nalufenya, balina okusooka okufuna ebbaluwa okuva ew’omuduumizi wa poliisi. EYASEMBYE OKWOGERA NE NAKIBINGE AYOGEDDE Ng’oggyeeko okuzannya fi rimu, Nakibinge mukozi mu kkampuni ya Winsor Consultancy e Lubaga ekola ku by’okwekulaakulanya.

 aama wa akibinge ve alembe ate ku ddyo ye mukyala we nabamu ku baana be Maama wa Nakibinge Eve Kalembe ate ku ddyo ye mukyala we n'abamu ku baana be

 Mukozi munne, Derrick Mutema agamba, “Nakibinge abaamukutte baamusanze ku minisitule y’ebyenguudo n’emirimu gye yagenze okusisinkana omukungu omu.

Yankubidde essimu n’antegeeza nti gw’agenze okulaba tannamulaba. Nga wayise essaawa emu (ku ssaawa 3:30 ez’oku makya) yazzeemu okunkubira essimu ng’antegeeza bw’afunye obuzibu nti waliwo abamukutte kyokka tabamanyi era tamanyi kye bamuvunaana.” Mutema yagambye nti yakubira Nakibinge essimu naye kye yasemba okuwulira ng’agamba, ‘ndaba ndi Kololo...’ “Ekyaddako ssimu kuvaako,” Mutema bwe yannyonnyodde. Wano we baatandikidde okuyigga Nakibinge ku poliisi ez’enjawulo.

Ku Lwokubiri, Bankiiya (muka Nakibinge) yagenze ku poliisi ya CPS mu Kampala n’aggulawo omusango gw’omuntu we okubula ku fayiro nnamba SD Ref;40/03/05/2016. Oluvannyuma lwa Nakibinge okubula, baafunyeessimu ezitategeerekeka gye ziva. “Eyasoose yabadde etutegeeza nti omuntu waffe ali Kireka ku SIU.

Eno twatuuseeyo kyokka ne batutegeeza nti taliiyo. Twazzeemu okuwulira nti ali Nalufenya kyokka ne batugamba eyo okugendayo omala kufuna bbaluwa era gye tulinze,” Bankiiya bwe yagambye.

 POLIISI EYOGEDDE Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga eno, yategeezezza nti kituufu Nakibinge yakwatiddwa era akuumibwa Nalufenya, ekifo ekimanyiddwa gye bakuumira abali ku misango gy’obutujju.

“Sirina ky’amaanyi kye nnyinza kukubuulira ku nsonga za Nakibinge okugeza emisango egyamukwasizza. Naye kye njagala okukukakasa, ali mu mikono gya poliisi e Nalufenya.

Nsuubira aba famire ye bamanyi ekyamukwasizza.”KU Lwokutaano, aba Zubair baatudde okusala entotto okuyamba munnaabwe. Bbosa Sserunkuuma, akulira ekibiina kino yagambye, “Nakibinge tuludde naye okuva mu 2009 era musajja mulungi.

Tubadde tuteekateeka mbaga ye nga n’enkiiko zitandika lwaleero (yabadde ategeeza ku Lwakutaano). Ndowooza yakwatiddwa lwa byambalo by’amagye bye yakozesa mu fi rimu emu. Naye ebintu ebyo bwe tumala okubikozesa tubizzaayo. Kasita tuzudde gy’ali.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.

Blackcouplefightrelationshipsadangryunhappye1471357042435690450crop80 220x290

‘Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba’...

ABAKAZI emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.