TOP

Tubadde tuloga abantu ne bafa oluvannyuma ne tubalya

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2016

Tubadde tuloga abantu ne bafa oluvannyuma ne tubalya

Naj1 703x422

Nazziwa ng’attottola ebintu bye baakolanga.

BAZZUKULU ba Kawuulu e Bukunja balokose ne bawa obujulizi obuwuniikiriza nga bannyonnyola nga bwe babadde baloga abantu ne bafa oluvannyuma ne babalya.

Selisita Nazziwa 40, ne Pio Kamya gwe bamanyi nga Ssaalongo Muwanga be baagenze mu Kkanisa ya Synagogue Church Of All Nations eya Nabbi Samuel Kakande ne bawuniikiriza abaabadde mu kusaba bwe baatandise okuwa obujulizi nga bwe baalyanga abantu.

Nazziwa yattottodde nti baalina eddagala mwe baawangira ekitambo nga balisiba ku kati ng'obudde bwe buziba nga bagenda ku ntaana awabeera waziikiddwa omuntu ne bakoona akati ako ku ntaana awabeera omutwe nga bwe balaamiriza ne baziikula omufu.

Yagambye nti akati mwe baawangira ekitambo yatambulanga nako naddala ekiro nga bw'atuuka ku muntu n'amwegomba ng'akamukoonako n'awunga n'amugoberera ng'oyo amutwala eka nga bamusala ne beggweera.

Nti ekyo bakikola ku muntu atamanyiddwa ku kitundu naddala ng’atambula abuuza ekkubo (nga tamanyi kkubo limutuusa gy’alaga) kubanga oyo tabeerako banaamulondoola.

Nazziwa yagambye nti, bava mu luggya lwa Kawuulu eyasingisibwa emisango gy’okulya omuwala Daliya.

Oluvannyuma yakulembeddemu abaweereza mu Kkanisa ya Kakande nga bakulemberwa Grace Kembabazi n’abatwala ku lusozi Kalivaaliyo e Ssi mu Bukunja n'abalaga ebifo we yasinziiranga okusera n'okutigomya ebitundu era ne batandika okumusabira kubanga yabadde amaze okwatula obulokozi.

Nazziwa ng’ali ne banne okuli Kamya ne Muwanga baalombozze ebizibu ekitambo bye kibatuusizzaako omuli okubalemesa obufumbo ate nga n’abaana be baazaala baabaddukako ne batandika obulamu obupya nga batya okuyingizibwa mu busezi n’okusiigibwa ekitambo.

Abamu ku batuuze baawadde obujulizi obulaga nti, Nazziwa ne banne babamanyi ng’abalogo kkungwa kyokka nga buli lwe babakwata beewozaako nti ssi balogo wabula basezi ate balya bafudde! Ssentebe wa Kawuulu LCI, Godfrey Buwembo yatutte abantu mu kifo awagambibwa okubeera nti we baaziika Kawuulu ate oluvannyuma ne bagenda mu kifo Nazziwa we yakuma ekyoto kw’agamba nti kw’abadde akalirira ennyama y’abafu.

Buwembo yagambye nti ekyalo ekyo kyali kiyitibwa Malongwe ne bakikyusa erinnya ne bakituuma Kawuulu olw’ekyafaayo ky’omusezi kayingo eyalya Daliya. Kisangibwa mu Buikwe Town Council.

Abaweereza mu kkanisa ya Kakande baagabidde abatuuze ensawo z’omuceere 500 ne babakubiriza n’okunywerera ku Yesu kubanga y’asumulula abali mu buwambe. Nazziwa ne banne baategeezezza nti okuva lwe baayatudde obulokozi, bawulira obulamu obuggya era balina emirembe. Samuel Madira aduumira poliisi e Buikwe yategeezezza nti ebikolwa by'okusaddaaka abantu n'eby'ekirogo bimaamidde disitulikiti y’e Buikwe era gy'egimu ku misango gye basinga okufuna. Nazziwa ekiseera kino yavudde ne ku lusozi Kalivaaliyo n’asengukira e Nkokonjeru

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...