TOP

Omukazi afumitiddwa ebiso n'afiirawo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2016

Omukazi afumitiddwa ebiso n'afiirawo

Muk1 703x422

Abatuuze nga bakuhhaanidde awaabadde obutemu. Mu katono ye mugenzi bw’abadde afaanana.

ABATEMU baayingiridde omukazi asula yekka mu nju ne bamusogga ebiso, ebyamusse ne badduka. Ettemu lino litabudde abatuuze kuba omukazi gwe basse si mugagga nti alina ebintu ne basaba poliisi esitukiremu enoonye abatemu.

Betty Ate, 38, abadde abeera ku kyalo Kitoolo, Najjembe mu disitulikiti y’e Buikwe, yattiddwa mu kiro ekyakeesezza eggulo ng’abatemu tebalina kintu kyonna kye baatutte. Omugenzi abadde asula yekka mu muzigo gwe yapangisa, ku kyalo kwe bamuzaala okuva bwe yanoba ewa bba. Abatuuze bagamba nti omugenzi abadde talina mulimu gwa nkalakkalira gw’akola okuggyako okunoga amayirungi n’agatunda.

Kyokka abadde amanyiddwa nti awoomerwa omwenge ng’abantu bano batera okubeera nabo. Omuwala gwe babadde bakola naye, Suzan Namusisi yagambye nti, yakedde okugenda okuzuukusa Ate, nga bwe baabadde bakkaanyizza eggulolimu kyokka yakanze kumuyita nga tamuddamu. “Nga wayiseewo ebbanga, nawaliriziddwa okusindika oluggi, era nneekanze okulaba ng’omukono gwe gujjudde omusaayi”, Namusisi bwe yategeezezza.

N’agamba nti teyasoose kutegeera nti afudde wabula yayise abantu bamutaase bamutwale mu ddwaaliro, kyokka baagenze okumutuukako ng’afudde. Abatuuze baayise poliisi y’e Lugazi eyazze n’eyingira mu nju omulambo mwe gwabadde n’egutwala mu ggwanika mu ddwaaliro ly’e Kawolo.

Poliisi yaggyeeko abantu sitetimenti okuzuula ekyabaddewo n’okubayamba mu kubuuliriza kwabwe. Omugenzi yabadde n’ekiwundu ku mukono n’ekisambi kyokka nga n’ensingo yabadde erabika nga gye baanyodde.

Okuttibwa kwa Ate, kutiisizza abatuuze kuba abatemu tebalina kintu kyonna kye baatutte nga newankubadde ennyumba za mizigo abantu abaliraanyeewo tewali yawulidde ng’obutemu bukolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group