TOP

Muhammad Nsereko agenze ewa Museveni ku nsonga z'omumyuka wa Sipiika

By Ahmed Mukiibi

Added 11th May 2016

Muhammad Nsereko agenze ewa Museveni ku nsonga z'omumyuka wa Sipiika

Sp1 703x422

Nsereko

ENKAMBI ya Muhammad Nsereko n’eya Jacob Oulanyah zonna ziwera nti singa akalulu ak’omumyuka wa Sipiika kakwatibwa olwaleero, buli ludda luwangulira waggulu. Aba Oulanyah bagamba nti singa akalulu kakubwa kati, Oulanyah awangulira waggulu n’obululu obuli wakati wa 250 ne 300 ku babaka abasoba mu 450 aba Palamenti empya.

Kyokka ab’enkambi ya Nsereko bagamba obuwanguzi bwabwe, nti we bwazibidde eggulo ku Lwokubiri ng’ababaka abasoba mu 280 bamaze okukakasa nti akalulu kaabwe ka Nsereko, tebayinza kuwa Oulanyah kalulu kuwa Sipiiika Rebeca Kadaga ‘Situleesi’.

Nsereko yasisinkanye ababaka abali mu ttiimu ye eya bakakuyege eggulo ku Palamenti okwongera okuttaanya enteekateeka ez’okukunga ababaka okumuwagira ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika ky’avuganyako ne Oulanyah eyasimbiddwaawo ekibiina kya NRM.

Bino biddiridde Nsereko (talina kibiina) okusisinkana Pulezidenti Museveni mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe , n’agaana okuva mu lwokaano nga Pulezidenti bwe yabadde amusabye ku lw’obulungi bw’ekibiina kya NRM.

Wabula Nsereko yategeezezza Pulezidenti nti tasobola kulekera Oulanyah kubanga bombi , balina ebigendererwa n’endowooza z’ebyobufuzi za njawulo. Omu ku bakakuyege ba Nsereko, Latif Ssebaggala yategeezezza nti nti we bwazibidde eggulo ng’ababaka abakakasizza okuwa Nsereko akalulu basoba mu 280 ku babaka abasoba 450 aba Palamenti empya.

 “Tulina ababaka abasoba mu 60 okuva mu bitundu eby’obukiikakkono, ababaka nga 90 okuva mu Buganda, ababaka 72 okuva mu bitundu eby’obugwanjubwa n’ababaka nga 80 okuva mu bitundu eby’obuvanjuba”, Ssebaggala bwe yategeezezza Wabula Omubaka Godfrey Kiwanda Ssuubi ow’enkambi ya Oulanyah yategeezezza Bukedde eggulo nti Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba nga y’akulira kampeyini za Oulanyah yatuuzizza olukuhhaana lwa bakakuyege abasoba mu 100 ne bateesa ku ngeri y’okuyiggira Oulanyah akalulu.

Kiwanda yagambtye nti akafubo kano keetabiddwaamu abaabadde mu nkambi ya Kadaga nga bakulirwa Isaac Musumba n’ababadde mu nkambi ya Oulanyah nga bakulirwa ye (Kiwanda) era bakkaanyizza okukolelra awamu. Yagasseeko nti ne ssentebe wa NRM , Pulezidenti Museveni tatudde, yasisinkanye ababaka abatalina kibiina era baamukakasizza nti baakuwagira Oulanyah ku bumyuka bwa Sipiika. Yagambye nti singa balonda olwaleero Oulanyah awagula n’obululu kumpi 300

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke