TOP

Omukazi olufunye omusajja omupya ne batta omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2016

Omukazi olufunye omusajja omupya ne batta omwana

Mwa1 703x422

Mabonga eyafudde.

OMUSAJJA yabadde ku mulimu ne bamukubira essimu nga bamutegeeza nti omwana we akubiddwa amasannyalaze n’afa!

Yafuniddewo okwekengera kubanga abadde aludde ng’abanja omwana ono, kyokka nga tebaagala kumumuwa era gye byakkidde nga lipoota y’abasawo eraze nti yatugiddwa n’afa. Omulambo tegwabaddeko kabonero konna kalaga nti omwana yakubiddwa masannyalaze. Kiteeberezebwa nti Halima Namutibwa, 24, ne bba omupya Yusuf Waiswa be beekobanye ne batuga omwana Swabaha Mabonga ow’emyaka esatu.

Namutibwa ne Waiswa baakola omukolo gw’okwanjula ogw’amaanyi mu January w’omwaka guno, wabula kigambibwa nti omusajja yafunyeemu okwekengera nga kuva ku nkolagana eyabadde etandise wakati wa Namutibwa n’eyali bba, Faisal Mabonga, 30, era ng’ono ye taata w’omwana.

 muserikale ngasonze awali akawaya kamasannyalaze agagambibwa okutta omwana abonga Omuserikale ng’asonze awali akawaya k’amasannyalaze agagambibwa okutta omwana Mabonga.

 Abamu ku batuuze b’e Njeru baategeezezza nti enkolagana eno ebadde eva ku mwana era Waiswa yagezezzaako okukunya Namutibwa ku nkolagana n’omusajja gwe yayawukana naye omwaka mulamba emabega, kyokka omukazi n’alemera ku kimu nti, “Omwana y’atugatta.

” Olutalo lwakyuse ne luva ku mukazi ne ludda ku mwana era poliisi eteebereza nti Waiswa ne Namutibwa balina kye bamanyi ku ngeri omwana ono gye yatugiddwa.

Faisal agamba nti yasooka kukwata Namutibwa ne Waiswa mu bwenzi omwaka oguwedde era n’asalawo baawukane n’omukazi. Omukazi bwe yava ewa Faisal nti yasibira wa Waiswa era emyezi ena egiyise ne bakola omukolo gw’okwanjula mu bazadde b’omuwala e Wakisi nga kigambibwa nti kino kyakolebwa nga Waiswa alina ekigendererwa okwongera okunyweza Namutibwa.

Kirowoozebwa nti n’okutta omwana kwabadde kugendereddwaamu kukakasa nti obufumbo bwabwe bunywerera ddala awatali kintu kyonna kiwugula Namutibwa. OMWANA YAFUDDE KU LUNAKU LW’OKUMUKWASA KITAAWE Omulambo gwasangiddwa kumpi n’awali waya y’amasannyalaze nga kiteeberezebwa nti baamaze kumutuga ne balyoka basuulawo omulambo olwo ne bayita baliraanwa okubategeeza nti omwana akubiddwa amasannyalaze.

 amutibwa maama womwana eyadduse Namutibwa, maama w’omwana, eyadduse.

 

 

Baakubidde ne Faisal essimu okumutegeeza ekintu kye kimu. Wabula Faisal yagambye nti yafunyeemu okwekengera oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’ayagala omwana abeereko naye mu makage agali e Ddekabusa mu ggombolola y’e Wakisi mu Buikwe, kyokka nga bamusimbira ekkuuli.

Namutibwa ne Waiswa nti eky’okuwaayo omwana babadde bakiwakanya nnyo kyokka oluvannyuma Faisal n’abasinza amaanyi ne bakkiriza okumumuwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno. Ekyewuunyisa, ate ku lunaku olwo lwennyini omwana kwe yafiiridde ku ssaawa 4:00 ez’oku nkya.

Faisal yagambye nti bwe baamukubidde essimu nga bamutegeeza nti omwana afudde, yasoose kulowooza nti bya lusaago wabula yaguddewo ekigwo okutuukawo ng’alaba omulambo gusabikiddwa gwonna era nga tebakkiriza bantu kugubikkulako.

Baagambye Faisal atwale omulambo kyokka ne yeerema ng’agamba nti gumala kusumululwa era baagenze okuguggyako engoye n’obuguwa obwabadde bugusibiddwaako nga teguliiko bubonero bwa masannyalaze wadde okusiriira oba okuddugala!

 batuuze nga bakuhhaanidde ku muzingo gwa aiswa Abatuuze nga bakuhhaanidde ku muzingo gwa Waiswa.

 Awo Faisal we yayitidde poliisi, kyokka yagenze okutuuka ku kyalo Malindi – Njeru mu ggombolola y’e Wakisi mu Buikwe awaabadde omulambo nga Namutibwa ne Waiswa babuzeewo era mu kiseera kino balira ku nsiko. Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ly’e Jinja ne bagukebera ne bafulumya lipoota eraga nti yatugiddwa butugwa.

Akola ku musango guno ku poliisi y’e Wakisi, Richard Buyinza yagambye nti bagguddewo fayiro SD:16/04/05/2016 kwe bagenda okuvunaanira Namutibwa ne Waiswa ogw’obutemu amangu ddala nga bakwatiddwa.

Ssentebe w’ekitundu ky’e Malindi, Joseph Kyobe, yategeezezza nti wabaddewo okusika omuguwa ku by’omwana ono wakati wa Faisal omuvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Njeru ne Namutibwa kw’ossa Waiswa omukozi mu kkampuni ekola emitayimbwa e Wakisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...