TOP

Poliisi esunsudde 309 okulwanyisa obutujju

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2016

Poliisi esunsudde 309 okulwanyisa obutujju

Ka1 703x422

POLIISI esunsudde abasirikale baayo 309 n’ebatwala mu kutendekebwa okwenjawulo mwe bagenda okufunira obukodyo bw’okukolera mu buli mbeera naddala mu kulwanyisa obutujju.

 Akulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku kutendeka, Andrew Felix Kaweesi bwe yabadde ayogera eri abaserikale abasunsuddwaamu mu nkambi y’amagye e Nakasongola, yagambye nti poliisi eri mu kaweefube w’okulaba ng’abaserikale basobola okwahhanga embeera yonna omuli okukolera mu bbanga, ku ttaka ne ku mazzi.

 “Twasazeewo okusunsula mu baserikale ne tufunamu 309 nga ku bano kuliko abakazi 23. Bagenda kutendekebwa mu bukodyo obwenjawulo obujja kubasobozesa okukola emirimu nga tubayita ba ‘Elite Forces’ era baakukolera mu kitongole ekirwanyisa obutujju,” Kaweesi bwe yagambye. Yagambye nti poliisi yafunye abakugu okuva e Yisirayiri ssaako n’ab’ekitongole ekirwanyisa obutujju ekya Joint Anti Terrorism (JAT).

Mu bukodyo bwe bagenda okutendekebwamu, mulimu n’obw’okununula abawambiddwa okuva mu mikono gy’abalabe. Okutendekebwa kwa kumala emyezi ena era balina essaawa emu yokka ey’okwebaka buli lunaku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja