TOP

Makerere bagitadde ku nninga ku bya DR Stella Nyanzi

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2016

Makerere bagitadde ku nninga ku bya DR Stella Nyanzi

Nya1 703x422

DR Stella Nyanzi

ABABAKA ba palamenti batadde abakulira yunivasite y’e Makerere ku nninga nga baagala okubannyonnyola oba enneeyisa y’omusomesa waayo, Dr. Stella Nyanzi eyeeyambula teeveeko bayizi okumukoppa.

Ababaka ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza era basabye abakulira yunivasite okutangaaza ku ky’abayizi okuganzibwa abasomesa ne babawa obubonero obw’obwereere.

Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti ak’ebyenjigiriza akaakubiriziddwa omumyuka wa ssentebe, William Ngabu Kwemara (Kyaka) akaasisinkanye abakulira Makerere abaakulembeddwa omumyuka wa cansala, Polof. Ddumba Ssentamu.

 olof dumba ku ddyo kaminsona wa minisitule yebyenjigiriza obert cheng wakati nakulira ebyomutindo ku yunivasite incent sembatya mu kakiiko Polof. Ddumba (ku ddyo), kaminsona wa minisitule y’ebyenjigiriza Robert Ocheng (wakati) n’akulira eby’omutindo ku yunivasite, Vincent Ssembatya mu kakiiko.

 Baabayise ku kya kkoosi eziwera 39 yunivasite z’egenda okuggyawo n’ababadde bazisoma gye bagenda okuyisibwamu.

Polof. Ddumba yagambye nti abasoma kkoosi ezo bajja kugenda mu maaso okutuusa lwe banaamala kyokka teri bayizi balala bagenda kukkirizibwa kuzisoma. Ddumba era yagambye nti yunivasite egenda kulekera awo okusomesa dipuloma ne satifekeeti.

Yagambye nti yavumirira enneeyisa ya Dr. Nyanzi ate ku ky’abasomesa okuganza abayizi yagambye nti takirinaako bukakafu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo