TOP

Amerika evuddeyo ku byayogeddwa Museveni e Kololo

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Amerika evuddeyo ku byayogeddwa Museveni e Kololo

Ma1 703x422

Bruce ng’ayogera. Ku ddyo ye mubaka wa Amerika mu Uganda, Deborah R. Malac .

AMERIKA etegeezezza nti essa ekitiibwa mu nkolagana yaayo ne Uganda. Era okumala ebbanga bingi ebituukiddwako mu kutumbula Ebyobulamu, Ebyenjigiriza n’ebyobutebenkevu.

Ku Lwokutaano Omumyuka wa Minisita Wensonga Zebweru (Principal Deputy Secretary of State for African Affairs) Bruce Wharton yategeezezza nti kyokka bwe yazze mu kulayiza Museveni e Kololo yasobeddwa ebyayogeddwa Pulezidenti bwe yalumbye Kkooti y’ensi yonna n’agiyita akabinja k’abantu abatagasa ekyamuwalirizza okwekandagga.

N’alumba n’amawanga g’Abazungu abaali baagala okutwala eky’obugagga ky’omu ttaka ekya ‘uranium’ bakikolemu amasannyalaze Uganda esigale mu nzikiza. N’agamba nti gye buvuddeko Amerika yafuna obutakkaanya ne Uganda.

Kyokka nga mikwano gya Uganda, bawulira kibakakatako okwogera ku bigenda mu maaso ku kutyoboola eddembe ly’obuntu n’ebikolwa ebirala ebiyinza okukonzibya Uganda mu maaso era kye tuva tuvaayo okubyogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi