TOP

Engeri Besigye gyeyatolose ku Poliisi n'ayingira ekibuga

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Engeri Besigye gyeyatolose ku Poliisi n'ayingira ekibuga

Be1 703x422

Bukedde azudde engeri Besigye gye yatolose ku baserikale okuva e Kasangati n’ayingira ekibuga. Ku Lwokusatu ku makya, emmotoka ya Besigye yafulumye ekikomera nga taliimu. Abaserikale ne bagyaza ne bagikkiriza okugenda nga dereeva abagambye nti yabadde agenda kugula bintu mu katale.

Ensonda zaategeezezza nti abaserikale abakuuma ewa Besigye bonna babeera bweru noolwekyo tebamanya nnyo biri munda. Ku ssaawa 2:30 ez’enkya ekimotoka ky’amazzi kyazze nga kijjudde amazzi ne bakyaza ne kiyingira.

Kyamaze munda eddakiika nga 45 nga kittulula amazzi mu ttanka. Mu kufuluma baakyazizza nga mu maaso mulimu dereeva ne ttanibboyi. Tebaakebedde munda mu ttanka. Mu ttanka Besigye mwe yabadde.

Ensonda zaategeezezza nti ekimotoka ky’amazzi kyavuze ne kigenda mu bitundu by’e Kampalamukadde awaabadde emmotoka ya Besigye nga yatuuse dda. Besigye yavudde mu ttanka n’ayingira emmotoka ye n’emutwala kasirise n’efubutukira ku Namirembe Road. Abantu okuli n’abaserikale baagyekanze asemberedde ekisaawe ky’e Nakivubo.

Wano Besigye we yayimiriridde mu mmotoka n’atandika okukunga abantu okugenda ku mukolo gwe ogw’okumulayiza. Aduumira poliisi y’e Kasangati, James Kawalya mu kiseera kino yabadde ku geeti ewa Besigye n’abaserikale be. Ate oluguudo lw’e Gayaza lwabaddeko ennyiriri z’abaserikale abalawuna. Baakubidde Kawalaya essimu nga bamubuuza Besigye gw’akuuma gy’ali n’akakasa nti yabadde ali munda mu nju ye. Era ne Kawalya ng’ali ku geeti nga n’abaserikale beetoolodde ekikomera.

Regional Police Commander wa Kampala, Abbas Byakagaba yakubidde essimu akulira CPS Aron Baguma agende mangu e Nakivubo awali Besigye. Ono ye yasindise poliisi ennawunyi okukwata Besigye, we baamuggye okumutwala e Nagalama. Olukiiko olwamangu lwatudde ne basalawo okumutwala e Moroto-Karamoja.

Kyokka beesanze nga tebasobola kumutwalira mu mmotoka olw’olugendo (okuva e Kampala okutuuka e Karamoja waliwo Kilomiita 480) ate ng’amakubo mabi. Kwe kumuvuga okutuuka e Kololo ne bamussa mu nnyonyi ya poliisi nnamunkanga eyamututte e Karamoja.

Ennyonyi yagudde ku kisaawe ky’essomero lya Nadunget. Wano poliisi we yamuggye okumutwala mu kaduukulu ka poliisi okutuusa ng’emikolo Bannabyabufuzi bawadde endowooza zaabwe gy’okulayira giwedde. Kyokka amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye yategeezezza Bukedde nti e Kasangati tebaateekayo baserikale kukuuma maka ga Besigye.

Baabateekayo kuwa bakama baabwe mawulire ku kigenda mu maaso okugeza bw’aba ategeka okwekalakaasa bamukwate nga tannakikola. N’agamba nti ku Lwokusatu y’ensonga lwaki baamukutte ng’ali mu kibuga akunga abantu. Namaye era yagambye nti Besigye ali mu mikono gya poliisi mu mbeera nnungi.

KAYIHURA ATUUZIZZA OLUKIIKO Ku Lwokutaano, Gen. Kale Kayihura yatuuzizza olukiiko olulala okwongera okunyweza enkola ya poliisi n’okukyusa abapoliisi y’e Kasangati. Ensonda zaategeezezza nti entegeka zaabadde zikoleddwa okutwala Besigye mu kkooti e Moroto eggulo (Lwakutaano) avunaanibwe okujeemera ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza ebikolwa bya Besigye eby’obujeemu. Omumyuka wa Ssaabalamuzi Stephen Kavuma yawa ekiragiro ekiyimiriza ebikolwa bya Besigye eby’obujeemu.

Okumuvunaana kyasaliddwaawo, kumutangira obutassaawo kabineti ye nga bwe yasuubiza ate nga Gavumenti eyagala okwewala okumusiba nga tagguddwaako misango. POLIISI EBUULIRIZA KU KATAMBI Poliisi era ebuuliriza ku katambi akassiddwa ku mikutu gy’empuliziganya akalaga okulayiza Besigye.

Ensonda zaategeezezza nti bonna abaalabikidde mu katambi nga Besigye alayira, poliisi ke yagambye nti kajingirire bagenda kubuuzibwa n’oluvannyuma lw’okukuhhaanya obujulizi baggulweko emisango.

Akatambi kalaga Wafula Oguttu, Ssentebe wa FDC Wasswa Biriggwa, omubaka akiikirira Busia Kevin Taaka. Oguttu yategeezezza Bukedde nti kituufu ali mu katambi era yabadde we kaakwatiddwa era mwetegefu okuwa poliisi buli ky’eyagala ku nsonga eno. Kyokka we zaaweredde essaawa 8:00 ez’olweggulo, Besigye yabadde akyali mu kaduukulu e Moroto nga tannatwalibwa mu kkooti.

Aba FDC abaakulembeddwa Roland Mugume omubaka wa munisipaali y’e Rukungiri baabadde bagumbye ku poliisi. Mugume yategeezezza Bukedde nti baamutuuseeko ku Lwokuna akawungeezi era baalidde naye ekyeggulo kyokka ng’embeera emunyize nnyo. “Ekifo kibi, tewali mazzi, masannyalaze, ensiri nnyingi, twagezezzaako okunoonya omusawo amuwe obujjanjabi nga tetumulaba,” bwe yannyonnyodde.

Mugume yagambye nti Besigye yagaanyi emmere kubanga abaagimuwadde tabeesiga. Ayongerako nti baasoose kumugaana kulaba bantu okutuusa lwe bakkirizza Ssentebe wa FDC e Moroto Simon Nangiro eyamutwalidde emmere ku Lwokuna olw’eggulo. Yannyonnyodde nti ekifo kikuumibwa poliisi, abamagye n’abali mu ngoye ezaabulijjo. Eggulo Nangiro yamutwalidde caayi ku makya era ye yakkiriziddwa okwogera ne Besigye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa