TOP

Amazzi gazibye enguudo e Luweero ne Nakaseke

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Amazzi gazibye enguudo e Luweero ne Nakaseke

Wo1 703x422

Oluguudo lw’e Wakyato oludda e Kapeeka omugga Kizzikibi lwe lwazibye.

ENKUBA efudemba evuddeko emigga okubooga ne gisala amakubo agamu ne gawomoggolwa mukoka, ekikalubizza entambula n’okusannyalaza ebyenfuna mu Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.

Nakaseke y’esinze okukosebwa oluvannyuma lw’emigga egiyiwa ku Kyoga okubooga nga kino kikosezza abalimi kuba ebirime byabwe bibulidde mu mazzi, abayizi balemeddwa okukola ebigezo nga n’abasuubuzi tebakyasobola kutambuza birime byabwe.

Ssentebe wa disituilikiti y’e Nakaseke, Ignatius Koomu Kiwanuka yasinzidde mu lukiiko lwa disitulikiti n’agugumbula abeerudde entobazzi ne balimiramu n’okuzimbamu n’agamba nti be bamu ku bavuddeko amazzi okukuluggusa ettaka ne liziba amakubo amazzi mwe gaali gayita.

Emigga egiyita kungulu kuliko Kizzikibi ng’abantu abava e Wakyato okudda e Kapeeka bakaluubiriziddwa entambula olw’ekitundu ekyasaliddwaako amazzi ng’ate oluguudo lubadde lwakaddaabirizibwa aba UNRA.

Ssentebe wa Wakyato omulonde, Samuel Serunjogi yagambye nti, abayizi mu masomero agasinga tebaakoze bigezo olw’amazzi okuziba enguudo sso ng’aamatooke, ente n’amata ebiyimirizaawo ekitundu kino ababirina tebasobola kubituusa mu katale.

Omugga Kayiwaggobe gwazibye oluguudo oluva e Wakyato okudda e Ngoma ng’abasuubuzi gye basinga okuggya amanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa