TOP

Balumirizza muganda waabwe okuwa kitaabwe obutwa

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Balumirizza muganda waabwe okuwa kitaabwe obutwa

Dad1 703x422

Ramathan Ismail (ku kkono) ng’aakulembedde muganda we Hassan Ismail (wakati) okugenda okuyiikula omulambo gwa kitaabwe mu Kablistan e Jinja ku Lwokubiri.

POLIISI ng’eri n’abasawo baayo abakugu basimye entaana ne baggyamu ebisigala by’omugenzi Al-Haji Ramathan Ismail eyali omusuubuzi omututumufu mu Jinja ne babitwala okubyekebejja bazuule ekituufu ku nfa ye.

Kino kiddiridde abamu ku bamulekwa abazaalibwa mukyala mukulu Asmat Shamim abaakulembeddwaamu Ramathan Ismail, Babu Ismail ne Hassan Ismail okuggula ku muganda waabwe Nasif Ismail omusango gw’okuwa kitaabwe obutwa n’afa.

Al-Haji Ismail yafa nga March 31, 2016 ekiro n’aziikibwa mu kifo ekimanyiddwa nga Kablistan e Jinja enkeera. Bwe yali tannafa, yakyalira mutabani we Nasif ku mulimu kyokka ne wayita olunaku lumu n’afa, banne kye beesibako nti yamuwa obutwa.

Omugenzi Al-Haji Ismail yaleka bannamwandu babiri nga bombi baaluganda okuli Asmat Shamim ne mukyala muto Yasmin Kababito. Omugenzi yaleka abaana 12. Kkooti olwafulumizza ekiragiro ky’okuziikula omugenzi okuzuula ekyamutta, ku Lwokubiri Poliisi n’ereeta Dr. Moses Byaruhanga akulira abasawo.

Yeegattiddwaako omusawo eyaleeteddwa Ramathan Ismail ne Nasif Ismail gwe balumiriza okutta kitaawe n’aleeta omusawo Dr. Sylvester Onzivua. BANNAMAWULIRE BAGAANIDDWA KU NTAANA Poliisi yagaanyi abaamawulire ku ntaana ng’omulambo guyiikulwa.

Era kabangali ya poliisi y’e Jinja yasimbiddwa wakati mu kkubo erigenda ku limbo ya Kablistan okuziyiza abantu abalala okuggyako aba famire okutuuka munda. Munda tewakkriziddwaayo kamera yonna yadde essimu.

Oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Jinja gye baaguggyiddeko ebitundu bye baatutte mu labalatole e Mulago okwekebejjebwa. Oluvannyuma ebisigala byazziddwa ne biziikibwa mu ntaana.

ABAANA BA MUKYALA MUTO TEBALINNYEEYO

Yadde bamulekwa ba mukyala mukulu baatuuse ku ntaana nga bayiikula omulambo gwa kitaabwe, aba mukyala muto tebaalinnyeeyo nga bagamba eddiini ekikolewa ky’okuziikula omufu tekikkiriza.

BAMASHEIKH BAVUMIRIDDE OKUYIIKULA OMUFU

Bamasheikh ab’enjawulo abaasoose okwetaba mu lukuη− ηaana ne Poliisi ku kitebe ekikulu ekya Kiira Region ng’okuyiikula omulambo gwa Al-Hajji tekunnakolebwa, baagaanyi okulinnya mu Kablistan.

Haji Khalid Mukasa eyasangiddwa mu ddwaaliro lye Jinja okumpi n’eggwanika yategeezezzanti abaana abaavudde e Kampala abaakulembeddwa Ramathan baakoze ekikolwa kya bukaafi iri kuba Obusiraamu tebukkiriza kuziikula bafu.

Yategeezeza nti Mzee Ismail naye yakola ensobi ey’okuwasa abakyala abooluganda n’asaba bamulekwa bakkakkane baleme kululunkanira byabugagga. Dr. Onzivua, eyaleeteddwa Ismail gwe balumiriza ku butwa, yagaanye okwogera n’abaamawulire.

Ate Dr. Byaruhanga, omusawo wa poliisi yategeezezza nti alipoota ejja kukolebwa era bagiwe Poliisi.

NASIF GWE BALUMIRIZZA AYOGEDDE Yategeezezza nti tamanyi kigendererwa kya baganda be n’abawabula nti bwe baba banoonya byabugagga, buli omu Katonda yamuwa emikono n’amagezi, ebyo bye baba bakozesa bave ku mmaali ya kitaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo