TOP

Omuyimbi Ssebbaale atuuyanidde ku poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2016

Omuyimbi Ssebbaale atuuyanidde ku poliisi

Seb1 703x422

Ssebbale ng'akuba amassimu okumutaasa ng'ali ku poliis e Kammengo

OMUYIMBI wa kadongo kamu  Fred Ssebaale bamukutte ng'avuga talina pamiti n'atuyaanira ku Poliisi y'e Kammengo.

Ssebbale okkwatibwa kidiridde Poliisi y'ebidduka e Kammengo ng'eri wamu ne nnawunyi okkola ebikwekweto ku ba dderreva ab'ebicupuli era nga muno ssebbale mwebamuyooledde ng'agenda e Masaka okuyimba ne yeegayirira bamute kubanga obudde bumuggwako ate alina okutuuka e Masaka gy'alina okuyimbira mu kivvulu.

 Ssebaale nga yakwakwatibwa asoose kulimba poliisi nti pamiti agyerabidde waka kyokka poliisi bwemututte mu ofiisi ya OC w’ebidduka n'alaba ng’obudde buziba n'atandika okulaajana nti ekivvulu kifa era nakkiriza nti tabangako na pamiti naye bamuyambe bamute agende ayimbire abawagizibe mu bitundu bye Masaka bwakomawo agenda kukikolako afune ebisaanizo byonna kyokka ne beerema.

 Oluvannyuma Ssebaale alabiddwako ng’akuba ssimu ez’okumukumu ng'asaba banne bamuyambe wabula natayambibwa era okukakkana nga poliisi emunywezezza.

Ssebbaale akwatiddwa ssaawa nga 11 ezakawungeezi  ng’ali mu motokaye eyekika kya Ipsum namba UAM 867S kyokka bwezibadde ziwera nga sawa emu eyakawungeezi nga poliisi ekyamukunya natandika okulajaana nti ekivvulukye kituuse okuyiika neyegayirira poliisi bamusonyewe naye ekituufu tafunangako pamiti.  

Obudde bugenze okuziba nga Ssebaale entuuyo atuuyana bwezikala gattako omuyimbi omulala omukazi gwabadde naye gwe yayimbanaye oluyimba “maama kabina “ ngali mu maziga ebyeru ng’alaba mukamaawe tavaayo munda gye bamuyingizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...