TOP

Besigye agaanyi okukola siteetimenti

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Besigye agaanyi okukola siteetimenti

Be1 703x422

Kiiza Besigye lwe baamuvunaana ogw’obuyeekera mu 2005.

BESIGYE yasoose kugaana kukola siteetimenti ku poliisi e Moroto we yaggyiddwa okutwalibwa mu kkooti wakati mu kwerinda okw’amaanyi. Kkooti yabadde yeebunguluddwa abaserikale nga ne munda bayimiridde buli wantu, olwo Besigye n’ayingira mu kaguli.

Kkooti teyabaddemu bantu baabulijjo okuggyako Roland Mugume, omubaka wa munisipaali y’e Rukungiri. Besigye yatuusiddwaayo ku ssaawa 12:30 akawungeezi ku Lwokutaano era mu kaguli mu maaso g’omulamuzi Charles Yeise yamazeemu eddakiika ttaano zokka n’asomerwa emisango gy’okulya mu nsi olukwe n’asindikibwa ku limanda okutuuka nga May 25, 2016.

Emisango: omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza nti Besigye ng’asinziira mu bifo eby’enjawulo, azze yeerangirira nga bwe yawangula okulonda Pulezidenti ku bitundu 52 ku 100. Teyakomye awo, yagenze mu maaso ne yeerayiza ku Bwapulezidenti ng’amanyidde ddala nti Bannayuganda baakuba akalulu akaategekebwa akakiiko k’Ebyokulonda era akakiiko ke kavunaanyizibwa okulangirira omuwanguzi. Ebikolwa ebyo bya kulya mu nsi lukwe. Omulamuzi yagambye nti Kkooti ye terina buyinza kuwozesa misango gya kulya mu nsi lukwe, kwe kumusindika ku limanda.

Besigye talina kye yayogedde. Yabadde amaze okutegeeza ku poliisi e Moroto nti talina ky’ajja kukola okutuusa ng’alabye balooya be. Ne siteetimenti eyamulagiddwa okukola ku poliisi n’agigaana. Mu misango gino, asuubirwa okugattibwako ebikonge bya FDC okuli Wafula Oguttu akulira oludda oluvuganya mu palamenti ne Wasswa Biriggwa ssentebe wa FDC abaalabiddwa mu katambi nga Besigye alayira.

Eggulo (Lwamukaaga) Ssentebe wa FDC e Moroto Simon Nangiro yakedde mu kkomera e Moroto okulaba Besigye kyokka Bukedde we yayogeredde naye nga tebannaba kumukkiriza kumulaba. Besigye poliisi yamukutte ku Lwakusatu bwe yeemuludde ku baserikale e Kasangati n’ayingira ekibuga.

Okuva awaka yafulumidde mu ttanka y’ekimotoka ky’amazzi ekyakedde okumutwalira amazzi. Karamoja kifo ekirina ebyafaayo by’okusibirayo abawakanya Gavumenti. Ku mirembe gy’abafuzi b’amatwale, Abazungu baggalirayo nnyo Bannayuganda abaalwanirira obwetwaze okuli Kangave Musaazi.

Mu kiseera ekyo Karamoja yali mbi nnyo nga bayitayo mu buwang’anguse. BALOOYA BOOGEDDE Luyimbaazi Nalukoola owa Mayanja, Nakibuule & Co. Advocates: omusango gw’okulya mu nsi olukwe munene nnyo kubanga gwekuusa ku kuggyako Gavumenti. Omuntu ne bw’amanyaako obumanya ku bikolwa ebyo n’atayogera naye ayinza okuvunaanibwa. Olw’obunene bwagwo, guwozesebwa Kkooti Nkulu yokka era ekibonerezo kyagwo kuwanikibwa ku kalabba.

 kkomera lye oroto gye baasibidde esigye Ekkomera ly’e Moroto gye baasibidde Besigye.

 Agusimattuka abeera muzira era aba tagusinze wabula okwejjeerera okufa. Munnamateeka Joseph Luzige era nga ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana omulonde, yategeezezza nti omuntu agguddwaako ogw’okulya mu nsi olukwe asobola okuvunaanirwa mu tteeka ly’obutujju omuli okukozesa eryanyi okuggyako Gavumenti oba okukozesa ebissi okutta pulezidenti.

Mu mbeera eno, ekibonerezo kiba kya kuttibwa. Ekiseera kino, Besigye ABAMU ku bakulembeze ba FDC bakyakuumirwa waka we batakkirizibwa kuva wadde okutuuzaawo enkiiko.

Bano kuliko; Ssemujju Nganda [mubaka wa munisipaali ya Kira), Micheal Kabaziguluka [mubaka wa Nakawa omulonde] , Ingrid Turinawe n’omumyuka wa ssaabawandiisi w’ekibiina, Holland Kaija. Kabaziguluka yabadde ayise olukiiko lwa bakkansala abalonde mu Kampala ku Lwokutaano kyokka ne lu-alina emisango emirala egimuvunaanibwa n’okumukwata nga tagguddwaako musango gwonna ne bamuggalira ku poliisi e Naggalama.

Naye kennyini alina gy’awaabye okuli ogusembyeyo mu kkooti y’e Kasangati ng’asaba kkooti eragire poliisi eve mu maka ge w’ebadde egumbye e Kasangati.

EMISANGO EGY’AMAANYI EGIZZE GIVUNAANIBWA BESIGYE:

1 Oluvannyuma lw’okwezooba ne Gavumenti mu kkooti, nga October 28, 2000, yakkirizibwa okuwummula amagye n’alangirira okwesimbawo okuvuganya Museveni mu 2001 mwe yafunira ebitundu 28 ku 100 ate Museveni n’afuna 69%.

2 December 14, 2005 yaggulwako omusango gw’okukwata omuwala Joanita Kyakuwa. Baamukwatira Busega ng’ava e Rukungiri nga yaakadda okuva e South Africa gye yawang’angukira mu 2002 ng’akalulu kaakaggwa.

3 2006 Okwewandiisa okuvuganya ku bwa pulezidenti yali mu kkomera e Luzira abaamuwandiisa e Namboole baatwala kifaananyi. Oluvannyuma yayimbulwa n’avuganya nga bw’awerennemba n’emisango gy’okulya mu nsi olukwe.

Ng’akalulu kanaatera okutuuka Omulamuzi Vincent Kagaba yagyongezaayo akalulu ne kaggwa kyokka yasigala awerennemba nagyo okutuusa 2010 kkooti n’egimuggyako.

4 March 1, 2007 ng’ali n’abalala 10, Besigye yeekubira enduulu mu kkooti etaputa ssemateeka ng’agamba nti okumuvunaana okuluka olukwe lw’okuggyako Gavumenti kimenya ssemateeka. Yasaba kkooti balekere awo okuvunaanirwa mu kkooti y’amagye.

5 November 26, 2004 muganda wa Besigye, Joseph Musasizi Kifefe yakwatibwa n’aggulwako ogw’okulya mu nsi olukwe n’afiira mu ddwaaliro e Mulago mu November 2007 oluvannyuma lw’okusibwa n’atafuna bujjanjabi n’alwalirayo ensigo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...