TOP

Omugole gwebaakakuba embaga bamwokedde mu nju

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Omugole gwebaakakuba embaga bamwokedde mu nju

Mug1 703x422

Pasita Nyanzi ne mukyala we Grace Nabuule ku mbaga Grace Nyanzi ku yaabwe emyezi ebiri egiyise ate mutono ng'apooca n'ebiwundu oluvannyuma lw'okwokyebwa omuliro

OMUGOLE gwe baakakuba embaga bamwokedde mu nnyumba n’abambuka omubiri gwonna. Ali bubi mu ddwaaliro e Mulago, takyayogera era takyalya!

Grace Nyanzi Nabuule, 25, muka Pasita Joseph Nyanzi, 32, owa Excellent Church e Nansana gwe baalumbye mu nnyumba gye bapangisa e Wamala mu Wakiso.

Enjega eno w’egwiriddewo nga waakayita emyezi ebiri ng’abafumbo bano bakoze embaga y’obufumbo era babadde tebannafuna zzadde. Omusumba Nyanzi yannyonnyodde nti ye yabadde ku kkanisa ku Lwokubiri ekiro ne bamukubira essimu ng’omukyala bwe bamwokezza nga baasoose kumutwala ku kalwaliro ka Fayam e Nansana.

Okusinziira ku Nyanzi, mukyala we ng’akyalimu akoogera, yategeezezza nti abamutuusizzaako obulabe balwana ntalo za mirimu kubanga gy’abadde akolera ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba babadde baakamukuza okuva ku kwaniriza abagenyi ne bamuzza mu by’okukwata ensimbi. “Abamu ku baakola nabo be baasoose okutukubira essimu nga bagamba nti ggaasi ye yabadde amwokezza sso nga ‘sirinda’ ya ggaasi yabaddewo nga teyidde era nga teriiko katuli konna. Ku ddirisa ly’ekisenge wabweru twasanzeewo ekisosonkole ky’ekibiriiti nga n’obuti busaasaanye” Nyanzi bwe yagambye.

Muliraanwa waabwe, Juliet Nankinga, yagambye nti mukyala musumba yafubutuse mu nju ng’adduka wabula bwe baamudduukiridde, ne balaba ng’omuliro gukutte ebisenge byombi naye ng’awali ggaasi mu kafumbiro teguliiwo. Ebintu by’omunju byonna okuli emifaliso, ebitanda, engoyen’ebirala byayidde. Ku kalwaliro gye baasoose okumutwala baamuggyeeyo ne bamwongerayo e Lubaga oluvannyuma ne bamusindika e Mulago.

Nabuule yayidde omubiri gwonna nga kati bamusibye bandeegi era aliira mu lupiira. Nyanzi yagguddewo omusango ku poliisi ku fayiro SD: 62/13/05/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...