FAMIRE emaze ennaku ttaano ng’enoonya bbebi, laba bwe bamusanze mu kibira nga mufu, emiranga n’ebiwoobe ne bijjula ekyalo!
Bino byabadde ku kyalo Kigoma okumpi ne Bujuuko mu Wakiso, omulambo gwa Oliva Nalukwago bwe gwasangiddwa mu kibira ekiriraanye awaka. Nalukwago muwala wa Willy Katumba ne Justine Namugenyi, alumiriza nti yandiba nga mukazimuggya ye yakoze ekikolwa kino.
Omulambo gwe gwazuuliddwa omulimi Ashraf Ssemwogerere eyabadde agenze okufuuyira ennyaanya, ng’olwamaze kwe kuyingira ekibira y’etyabire ku nku ku Lwokuna n’agulaba.

Yategeezezza poliisi y’e Bujuuko olwo aba famire, nabo abaabadde ku muyiggo, olwafunye amawulire kwe kutuuka awali omulambo nga gwe gw’omwana waabwe.
Gwabaddeko enkwagulo mu maaso ne ku bulago era ng’ensingo nnyoole kyokka nga teguwunya, ekitegeeza nti gwabadde gwakasuulibwawo. Willy Katumba wa maka abiri (2) ng’amakulu gali Kigoma-Bujuuko awali mukyala we omulala, Jackie Nakawunde, omusuubuzi w’ebyennyanja era wano omwana w’abadde abeera ne banne abalala.
Ng’omwana yaakabula, Nakawunde yategeeza nga bw’agenda ewaabwe e Kkooki wabula banne b’omugenzi balumiriza nti yagenda naye ku Lwomukaaga ng’abagambye nti amutwala mu ddwaaliro, okusinziira ku jjajja w’omwana, Margret Nankobe. Amyuka okulira poliisi y’e Nansana, Thomas Angora, yakakasizza okukwatibwa kwa Nakawunde abayambeko mu kunoonyereza