TOP

Engeri gyebaayoolamu abavubuka ba Bobi Wine ne bamyuka amaaso

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2016

Engeri gyebaayoolamu abavubuka ba Bobi Wine ne bamyuka amaaso

Bo1 703x422

OLWOKUNA lwa wiiki eno lwakedde bulungi ng’ennaku endala. Era omuserikale Nelson Okulu yakedde kukola paleedi ne banne olwo n’agenda ku misoni y’okukuuma emirembe. Anti ne Pulezidenti yabadde alayira kw’olwo. Wabula, obudde bwabadde tebunnaziba, ng’anyiga biwundu oluvannyuma lw’abavubuka b’omuyimbi Bobi Wine okumutabukira ng’ali ne banne ne bamukuba ejjinja.

Baabadde bamulanga kubatabula bwe yabakutte nga banywa ebigambibwa okuba enjaga n’okugitunda. Poliisi yafunye amawulire nti abavubuka bano baabadde balemesa abawagizi ba Museveni okugenda okwetaba ku mukolo gw’okumulayiza e Kololo.

Kwe kusindikayo abaserikale ne bazingizaako abamu mu kizimbe kya Ssemakookiro Plaza e Kamwokya nga balina ebiragalalagala era bangi baabasanze n’amaaso gamyuse kyokka ne babeekalizaamu nti; Ffe okumyuka amaaso si njaga nga bwe mulowooza, wabula amaaso galudde nga gatuluma era tunoonya ddagala ligawonya...” Poliisi yakutteko abavubuka bataano, omu n’akuba omuserikale Nelson Okulu ejjinja ku mutwe n’amwasa omutwe.

Wano baabadde ng’abakubye ejjinja mu njuki, poliisi n’eyongera okufungiza. Abaakwatiddwa kuliko Innocent Ahabwe amanyiddwa nga ‘Big’, Ashiraf Nsubuga eyeeyita Dex, Muhammad Kawooya ‘Red’, Ayah 256 ne Owach Giu eyeeyita Waginnyondo.

Baatwaliddwa ku poliisi ya Kira Road ku misango egy’enjawulo okuli okunywa enjaga n’okulumya omuserikale ku fayiro nnamba SD Ref28/12/05/2016 ne SD Ref 29/12/05/2016. Bonna emisango baagyegaanye ne bategeeza nti okumyuka amaaso kyava ku bulwadde obwabakwata amaaso era bagezezzaako okugajjanjaba kyokka gakyagaanye okuwona.

 Akulira poliisi ya Kira Road, ASP Gerald Tumwesigye yategeezezza nti wadde waabaddewo olutalo ng’abavubuka ba Bobi bagezaako okulemesa poliisi okukola omulimu gwayo, naye oluvannyuma baasobodde okuzuula akasenge enjaga mwe babadde bagitundira ne bakwatako emu ng’ekizibiti.

BOBI WINE AYOGEDDE Omuyimbi Bobi Wine yategeezezza nti tewali musango gwonna bavubuka be gwe bazzizza wabula poliisi n’amagye (baabadde bakolera wamu okunyweza ebyokwerinda) obwedda bayoola buyoozi abantu ne batuuka ku kizimbe kye. Era be baakutte ye agamba nti baabasanze batendeka maloboozi ne batandika okukwata ‘Gano amaaso okumyuka si njaga’ buli eyabaddemu.

Yagasseeko nti waliwo n’akambe ke baasibye ku bavubuka bano nti ke beeyambisa okufumita abantu kyokka n’ategeeza nti akambe ako bakakozesa mu kiyungu. “Nagezezzaako okuwondera abavubuka bange babate kyokka abaserikale baabadde bakyabalemedde,” Bobi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko